
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Minisita avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu era Ssaabawolereza wa Buganda, Owek, Christopher Bwanika aweze okulwanyisa ekibbattaka ekisuza abantu ba Kabaka nga tebeebase.
Obubaka buno Owek. Bwanika abuwadde atikkula Oluwalo Bannakyaggwe mu bimuli bya Bulange ku Lwokutaano.
Minisita Bwanika aweze nti tebagenda kuttira muntu yenna ku liiso naddala abatamannya ngamba abeesomye okumalawo ettaka lya Beene nga balyesenzaako ekizingamizza enkulaakulana.
Ono asabye abantu ba Kabaka okufaayo bajjumbire enteeketeeka za Buganda basobole okwekulaakulanya kuba zino zigendereddwamu okubakulaakulanya.
Ssaabawolereza, Owek. Christopher Bwanika, ku lwa Katikkiro, yeebazizza abakulira amasomero olw’okwagazisa abaana obuwangwa n’ennono zaabwe, n’okubaleeta n’okubaleetanga mu nteekateeka z’Obwakabaka.
Abakoowodde okujja okwetaba ku mukolo gw’Amatikkira nga 31 July, 2023, nga Kabaka aweza emyaka 30, ku Nnamulondo. Abasabye n’okusimba emiti ng’ebijjukizo by’omwaka g

Eyakulembeddemu abantu bano, Matovu Kato David ategeezeza nti newankubadde baliko ebisoomoza mu buweereza bwebaliko wabula tekibajja ku mulamwa era baakusigala nga baweereza Beene awatali kumutiiririra.
Bano baleese Oluwalo lwa bukadde 32 n’emitwalo 97 nekitundu okusobola okuyambako ku mirimu gy’Embuga okusobola okulaakulanya Obuganda.

Mu ngeri yeemu abantu ba Beene okuva mu Ggombolola ya Ssaabaddu Lwamaggwa okuva mu Ssaza Kooki bakedde mbuga mu nteekateeka y’okuleeta Amakula nga bakulembeddwamu omwami wa Kabaka amukulembererako eggombolola eno Robinah Ndibalwanya
Ye Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Omuk. Luutu Moses yabatikudde Amakula nakubiriza Abakooki okunnywerera ku Kabaka wabwe .
Omuk. Luutu alaze obwenyamivu ku bikolwa ebikyamu ebyeyongera buli lukya nga n’olunaku lweggulo abayizi mu Kyaggwe baweereddwa obutwa era nasaba gavumenti okunonyereza abakoze ekikolwa ekyo bakangavulwe.









