
Bya Ssemakula John
Kasubi – Kyaddondo
Abatwala ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku by’Ennono, ekya UNESCO, nga bakulembeddwamu Ssenkulu waakyo, Lazare Eloundou Assomo, balambudde Amasiro ge Kasubi okwekeneenya omulimu gw’okugaddaabiriza wegutuuse nebasiima ebikoleddwa.
Abakulu bano eggulo ku Mmande bakulembeddwamu minisita Henry Ssekabembe Kiberu kulwa minisita w’ebyobulambuzi nebalambula Amasiro gano okulaba omulimu wegutuuse.
“Olugendo luno lukulu nnyo eri Buganda ng’Obwakabaka, Uganda n’ensi yonna kuba amasiro gano gali ku ddaala lya nsi yonna,” Owek. Ssekabembe bw’ategeezezza.

Minisita Ssekabembe ategeezeza nti Amasiro tegakoma ku kugasa Buganda yokka wabula gaganyula ensi yonna nga yensonga lwaki gasaanye okudaabirizibwa obulungi nga ennono n’obuwangwa bigobererwa bulungi awatali mutendera gwonna gubuukiddwa okusobola okuzza ekitiibwa kyago.
Ye Omukungu wa UNESCO Lazare agamba nti omulimu gutambudde bulungi nasiima eky’okukkiriza abavubuka okwetaba mu mulimu gw’okuzzaawo amasiro gano kuba kino kiraga ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.
Lazare yeebazizza olwa kaweefube akoleddwa nakakasa nti okusinziira ku biriwo omulimu bwegutambula ekitiibwa ky’ekifo kino kigenda kuddawo mu bwangu.
Kamisona wa Gavumenti avunaanyizibwa ku bifo eby’ennono namakaddiyizo, Jackline Nyirakiza Besigye agamba nti gavumenti yakwongera okulaba nti batumbula eby’obulambuzi n’okulaba nti amasiro gano gaddawo.
Kitegeerekese nti ebinaava mu kulambula kuno byakufulumizibwa mu mwezi gwa September, nga akakiiko ak’okuntikko mu UNESCO kamaze okwekenneenya alipoota enaakaweebwa.









