
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga azzeemu okuggumiza obwetaavu bw’enfuga eya Federo okusobola okutuusa empeereza n’enkulaakulana eggwanidde ku bantu b’ebitundu eby’enjawulo.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde mu nsisinkano gyabaddemu n’abayivu okuva ku Ssettendekero wa Utah Leadership Academy asangibwa mu Amerika abagenyiwaddeko mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
“Enkola eya Federo ewa abantu mu mawanga ekyanya buli kitundu okulaakulanya ebyakyo eby’omunda. Okuba n’enkola eya Federo tekinafuya gavumenti ya wakati wabula kigiggyako omugugu gw’okulabirira buli kalonda ali mu buli kitundu,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga agamba nti tekikola makulu bantu kukabirira gavumenti ku buli kizibu ekibeera kiguddewo olw’okuba gavumenti zabwe ez’ebitundu tezirina buyinza bwonna kuba buli kimu kyateekebwa wakati.
Kamalabyonna Mayiga agamba nti gavumenti bano gyebakaabira naye erina obuvunaanyizibwa obugitutte ebirowoozo nga muno mulimu eby’okwerinda n’ebyenfuna, enkolagana n’amawanga amalala nebalemwa okubaako obuyambi bwebakola.
Akulembeddemu abayivu bano, Prof. Andrew Bibi agamba nti balowooza ng’enkola ey’okubagana obuyinza yesobola okutumbula embeera z’abantu kuba babeera bamanyi ekituufu kyebeetaaga mu mbeera ez’enjawulo.

Kakensa Andrew Bibi annyonnyodde nti enkulaakulana etuuseewo mu Amerika ebadde nakakwate ku Federo kuba basobola bulungi okuteekawo obwerufu n’okuteeka gavumenti ku nninga kwebyo byeyasigaza okukola.
Eyaleese abagenyi bano embuga, Katikkiro eyawummula Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere ategeezezza nti Settendekero ono akwatagana ne Federo era abantu balina okumanya nti Federo tegendereddwamu kusosola mu mawanga wabula kuligatta.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu baminisita okuli ow’Amawulire Noah Kiyimba, Ow’ebyemizannyo n’Abavubuka Henry Ssekabembe Kiberu n’abakungu abalala.









