
Bya Ssemakula John
Kalamba – Ssingo
Omukulu w’ekika ky’Ennyonnyi Ennyange,Omutaka Mbaziira Kisala Frank akuutidde Bazzukulu be okweenyigira mu nteekateeka z’ebika basobole okukulaakulanya Ekika kyabwe nabo okugenda mu maaso.
Obubaka buno abatisse Katikkiro w’ekika kino, Omulongo Mutuuma Fenekansi Kato ku mukolo gw’Okumanyagana kw’Abazzukulu ba Muyanja abeddira ekika ky’Ennyonnyi Enyange, ogubadde mu Nakiduduma e Kalamba mu Ssingo.
Ono asabye abazzukulu bulijjo okukuuma ennono n’obuwangwa bwabwe bisobole okusigalawo, abalijja nabo bagyenyumirizeemu.
Katikkiro w’ekika era ayozaayozezza Ow’omumbuga Charles Peter Mayiga Olw’emyaka ekkumi gyamaze ku bwa Katikkiro gwagamba nti obukulembeze bwe babuyigiddemu ebintu bingi.
Ku mukolo guno banjulidde abazzukulu Jjajja bwe Cosiya Muyanja agenda okukulembera omutuba gw’ebasibukamu ogwa Yeremiya Mubi.
Ye omuwandiisi mu kika kino, Kakumirizi Deogratius akubiriza abazzukulu okukikanga ku kika basobole okumanya gyebasibuka n’okutema empenda ezitwala ekika mu maaso.









