• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga atongozza Oluwalo 2023, asabye abazadde okuweerera abaana

Gambuuze by Gambuuze
February 28, 2023
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga atongozza Oluwalo 2023, asabye abazadde okuweerera abaana
0
SHARES
22
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange –  Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde abazadde amagezi  okwefiiriza baweerere abaana baabwe nokumanya nti ebintu ebisinga okukalubiriza byebyo byennyini eby’omuwendo.

Mukuumaddamula bino abyogeredde mu Bulange e Mmengo bw’abadde atongoza Oluwalo lw’omwaka 2023 ku Lwokubiri.

“Ebintu ebisinga otukaluubiriza byebisinga okubeera eby’omuwendo mu bulamu okusinga ebirala byonna era abazadde bateekeddwa okwefiiriza abaana babwe basome ate nammwe abaana museeyo omwoyo mumalirize emisomo gyammwe olwo mubakane n’ensi,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.

Katikkiro Mayiga era alabudde ku bantu ababuzaabuza abaana abasoma nga babagamba nti abagagga abalina ebizimbe tebaasoma ekitali kituufu kuba omuwendo gwabwe mutono ddala bwobagerageranya ku bungi bw’abantu mu ggwanga.

Owek. Mayiga asabye abaana okubaako nebifananyi byebateeka mu mutwe okusobola okutuuka ku binene era babeere n’okukkiriza mu mutima nti basobola okukyusa embeera z’obulamu bwabwe awatali kufaayo ku myaka gyebalina.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, abantu ba Buganda bongedde okujjumbira enteekateeka y’Oluwalo bwogerageranya nomwaka2016 welwatandikira.

Katikkiro agambye nti Obwakabaka buvaayo n’enteekateeka ng’Oluwalo ziyambeko okukyusa endaba y’ebintu mu Buganda n’okukomya okwekubagiza.

Annyonnyodde nti ensimbi eziva mu Lulwalo ziyambye nnyo Obwakabaka okubunyisa kaweefube wa Mmwanyi Terimba; okutumbula eby’enjigiriza n’ebyobulamu, awamu n’okuddaabiriza ebifo by’obuwangwa n’ennono.

Abaleese oluwalo luno kubaddeko eggombolola okuva e Buddu, Hon. Medard Lubega Sseggona, MUMUSA High School, okuva e Ssingo, abantu ba Kabaka ab’e Chicago mu Amerika, n’abantu abalala bangi, nga baleese obukadde 34,700,000/=.

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki  ategezezza mu nteekateeka y’omwaka guno eggombolola n’amasaza bagenda kuzzangayo ebitundu 3 ku buli 100 ku nsimbi zebaleeta.

Eggombolola ya Ssaabaddu Kalisizo bebanywedde mu malala akendo era baleese obukadde 12 emitwalo 24, Mutuba XV Kirumba Buddu ekulemberwa Ssegirinya Edward obukadde butaano.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist