
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde abazadde amagezi okwefiiriza baweerere abaana baabwe nokumanya nti ebintu ebisinga okukalubiriza byebyo byennyini eby’omuwendo.
Mukuumaddamula bino abyogeredde mu Bulange e Mmengo bw’abadde atongoza Oluwalo lw’omwaka 2023 ku Lwokubiri.
“Ebintu ebisinga otukaluubiriza byebisinga okubeera eby’omuwendo mu bulamu okusinga ebirala byonna era abazadde bateekeddwa okwefiiriza abaana babwe basome ate nammwe abaana museeyo omwoyo mumalirize emisomo gyammwe olwo mubakane n’ensi,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Katikkiro Mayiga era alabudde ku bantu ababuzaabuza abaana abasoma nga babagamba nti abagagga abalina ebizimbe tebaasoma ekitali kituufu kuba omuwendo gwabwe mutono ddala bwobagerageranya ku bungi bw’abantu mu ggwanga.
Owek. Mayiga asabye abaana okubaako nebifananyi byebateeka mu mutwe okusobola okutuuka ku binene era babeere n’okukkiriza mu mutima nti basobola okukyusa embeera z’obulamu bwabwe awatali kufaayo ku myaka gyebalina.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, abantu ba Buganda bongedde okujjumbira enteekateeka y’Oluwalo bwogerageranya nomwaka2016 welwatandikira.
Katikkiro agambye nti Obwakabaka buvaayo n’enteekateeka ng’Oluwalo ziyambeko okukyusa endaba y’ebintu mu Buganda n’okukomya okwekubagiza.
Annyonnyodde nti ensimbi eziva mu Lulwalo ziyambye nnyo Obwakabaka okubunyisa kaweefube wa Mmwanyi Terimba; okutumbula eby’enjigiriza n’ebyobulamu, awamu n’okuddaabiriza ebifo by’obuwangwa n’ennono.
Abaleese oluwalo luno kubaddeko eggombolola okuva e Buddu, Hon. Medard Lubega Sseggona, MUMUSA High School, okuva e Ssingo, abantu ba Kabaka ab’e Chicago mu Amerika, n’abantu abalala bangi, nga baleese obukadde 34,700,000/=.

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki ategezezza mu nteekateeka y’omwaka guno eggombolola n’amasaza bagenda kuzzangayo ebitundu 3 ku buli 100 ku nsimbi zebaleeta.
Eggombolola ya Ssaabaddu Kalisizo bebanywedde mu malala akendo era baleese obukadde 12 emitwalo 24, Mutuba XV Kirumba Buddu ekulemberwa Ssegirinya Edward obukadde butaano.









