
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Nnaalinnya Lubuga, Dr Agnes Nabaloga asabye abazadde okugunjula abaana nga balina empisa era nga bamanyi olulimi lwabwe kiyambe okunyweza Buganda n’okugikulaakulanya.
Okusaba kuno Dr. Nabaloga akukoledde mu Lubiri e Mmengo bw’abadde aggulawo omwaka gw’Amakula 2023 ku Lwokusatu n’okutikkula bannamukisa abaguddewo omwaka guno abakulembeze b’ebitongole ebyenjawulo mu nzikiriza y’Abadiventi.
Nnaalinya Nabaloga abazadde abasabye okwagazisa abaana obuwangwa n’ennono bibayambe okutambula obulungi mu nsi.
Ono era afalaasidde abantu okuzaawo n’okukuuma obutondebwensi okutaasa eggwanga eryenkya okugwa mu bizibu.
Bannamukisa abaguddewo omwaka guno kubaddeko abakulembeze b’ebitongole ebyenjawulo mu nzikiriza y’Abadiventi era bano baweze bulijjo okuwanirira ennono y’okuleeta Amakula embuga okusobola okulaba nti embiri z’Omutanda teziggwamu byakulya.

Ye Minisita w’Obuwangwa ne nono era avunanyizibwa ku lulimi mu Bwakabaka, Owek.David Kyewalabye Male mu kwogerakwe asabye abantu ba Ssaabasajja bulijjo okufaayo okutuukiriza obuvunannyizibwa bwabwe eri Nnamulondo nga lwejja okusobola okuggumira.
Omusumba w’ Abadiventi, Peter Nsereko Male Kisomokamazzi, asinzidde wano nalaga obwennyamivu olw’ emize egy’obugwenyufu egikyase mu bantu naddala mu masomero kyokka nasaba buli muntu okugirwanyisa.
Ebitongole ebikiise embuga kubaddeko Bangafi Agro Foretry , Hallmark construction and painting company , Light secondary schools Bulenga , Elmu company , Brooks Agro Farm nabalala era bano baweze okuweereza Beene nga bayita mu mirimu gyabwe.
Amakula y’ennono etuukirizibwa abantu ba Ssaabasajja okulaba nga embiri ze teziggwamu byakulya era buli Lwakusatu abantu ka Kabaka okuva mu ggombolola ez’enjawulo bakiika embuga okutuukiriza ennono eno.









