
Bya Ssemakula John
Entebbe – Busiro
Ab’obuyinza ku kisaawe ki Entebbe International Airport baliko abakozi babwe bebakutte ku bigambibwa nti babadde balya enguzi ku batambuze ekikontana n’amateeka agabafuga.
Kino kiddiridde abantu ab’enjawulo okuvaayo nebemulugunya ku bakozi ku kisaawe kino okubasaba enguzi etuukira ddala ku lukumi lwa ddoola ($ 1000) okusobola okufuluma era atakikola bamulemesa okulinnya ennyonyi.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku Lwokutaano, amyuuka Senkulu w’ekitongole ki Uganda Civil Aviation Authority(UCAA), Olive Birungi Lumonya akkirizza nti waliwo abantu abaggyibwako enguzi era baliko n’abakozi babwe bebakutte ku nsonga eno.
“Ali mu katambi mukozi wa UCAA lwakuba ssente bazimuweera bweru wa kisaawe. Naye akwatiddwa era tulina emitendera egigenda okugobererwa asobola okubonerezebwa,” Birungi bw’ategeezezza.
Ku nsonga eno, avunaanyizibwa ku bantu abayingira n’okufuluma eggwanga, Maj Gen Apollo Kasiita Gowa naye akkirizza nti omuze guno mweguli naye nawera okugumalawo kuba balina kukolera mu bwerufu.
Birungi Lumonya agamba nti beekenenyeza obutambi obuli ku mutimbagano nebazuula nti obumu bulimu abakozi babwe ate era waliwo n;obujingirire.
Abakulu ku kisaawe kino bategeezezza nti okuva mu mwaka 2020, baweza abakozi 26 abakwatibwa era abamu bagobeddwa, abalala bawummuziddwa ate abalala nebabonerezebwa mu ngeri ezitali zimu.
Birungi yeetondedde abantu bonna abakoseddwa olw’ebikolwa bino naye nasuubiza okubaako ekikyukamu.
Aba CAA era baweze abakozi okukozesa essimu nga bali ku mulimu era okutandika leero abasaabaze bokka be bakkirizibwa okubeera n’ essimu okusobola okukendeeza ku bikolwa by’enguzi.
Kati abakozi bonna balina okwambala kkaadi zabwe ez’emirimu mu bulago abantu basobole okufuna ebibakwatako.









