
Bya Ssemakula John
Masiriba – Ssingo
Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu egyakolebwa omugenzi James Mulwana olw’ettofaali lye yateeka ku nsi ye era n’abalala nebasabibwa okumulabirako nga baweereza Buganda ne Uganda.
Okusiima kuno kubadde Masiriba mu ggombolola ye Bukomero ku Ssande mu kusaba okwategekeddwa okujjukira obulamu bwa Mulwana n’okwebaza Katonda kwebyo byeyamukozesa.
Katikkiro yeebazizza Omugenzi, olw’okuweereza Kabaka n’Obwakabaka kuba yeetabanga butereevu mu kaweefube ow’okuzzaawo Obwakabaka n’okuzimba ebitongole nga Buganda Land Board, kye yabbulula mu Ebyaffe Bboodi.
Owek. Mayiga agamba nti Mulwana yalina obukugu mu byeyali akola era yali teyenyooma ate nga mwetowaze eri buli muntu nga n’olwekyo obulamu bwe bugwanidde okujjukirwa.

Ye Minisita w’Ebyentambula, Gen. Edward Katumba Wamala, asabye abavubuka okulabira ku mugenzi, batandike n’akatono ke balina, bakole nnyo basobole okulaakulana.
Gen. Katumba Wamala asabye abantu ababa baagala okutandika amakolero obutatya kutuukirira gavumenti nga Mulwana bweyali neyebaza abaana olw’okusigala nga batwala omukululo gwa kitaabwe mu maaso.
Nnamwandu Sarah Mulwana n’abaana beebazizza kitaabwe olw’okubasimira omusingi omugumu kwebatambulidde emyaka gyonna neyeeyama okutwala omukululo gwe mu maaso.
Omukolo gutandise nakusaba okukulembeddwamu Omulabirizi w’e Mityana Dr. James Bukomeko eyasabye abantu obutalindiriza nga baliko ekintu kyonna kye baagala okukola.

Omubuulizi omukulu, Omulabirizi Hannington Mutebi, atenderezza Omugenzi olw’obuntubulamu n’enkolagana ennungi gye yalina n’abantu. Ono era asabye ab’enju okutwala mu maaso enkolagana eyo.
Eyayogedde kulwa bannamakolero, Charles Mbiire atenderezza ennyo Omugenzi olw’ettofaali lyeyassa ku kutandikawo amakolero mu ggwanga okuli; Uganda Batteries, Nice House of Plastics, JESA awamu ne kampuni endala eziwerako.

Omukolo guno gwetabiddwako, Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Omulangira Dr. Kassimu Nakibinge, Omulangira David Kintu Wassajja, Katikkiro eyawummula Owek. John Baptist Walusimbi, baminisita mu Bwakabaka abawummula nabakyawereza n’abantu abalala bangi.
Kinajjukirwa nti eggulo nga Gatonnya 15, 2023 munnamakolero James Mulwana yava mu bulamu bw’ensi mu 2013 era giweze emyaka 10 nga afudde.









