
Bya Francis Ndugwa
Lubiri – Mmengo
Minisita w’Amawulire, Ensonga za Kkabineeti awamu n’Abagenyi era Omwogezi w’ Obwakabaka, Owek. Noah Kiyimba asabye abantu ba Buganda bulijjo okunyweza obumu era beewale obuntu obutono obuyinza okubawula basobole okulaakulana n’okuzza Buganda ku ntikko.
Obubaka buno, Owek. Kiyimba abuweeredde mu Lubiri e Mmengo bw’abadde atikkula Amakula ga Kabaka okuva mu Bannabuddu ab’eggombola ya Mumyuka Kalungu ku Lwokusatu.
“Kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko fenna tulina kutambulira wamu taliiko ono oba oli. Okusobola okutambulira awamu Ssaabasajja Kabaka yasiima naleegesa eng’oma Buganda bumu. Twewale obuntuntu obutono obutwawula obutalina makulu. Nnamuswa bw’abeera mu kiswa obwo obuntuntu buba tebukyalina makulu,” Owek. Kiyimba bw’agambye.
“Okuleeta Amakula kekamu ku bubonero obulaga nti tuli bawulize eri Ssaabasajja Kabaka awamu ne Nnamulondo.”
Abasabye okwongera okunyikiza enteekateeka za Buy
Owek Kiyimba yeebazizza Bannabuddu olw’okubeera ab’enkizo ku nsonga zonna ezikwata ku Buganda era n’ettoffaali lyebataddeko okuzimba n’okulaakulanya Obwakabaka.
Minisita Kiyimba abawadde amagezi okuba abakozi era abayiiya kibayambeko okwegobako nawoookera w’Obwavu ate nga nebyenjigiriza tebabisudde muguluka.
Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka Omuk. Moses Luutu mu bubaka bwe alaze obwennyamivu ku ebikolwa ebyekko ebize byeyoleka mu ggwanga omuli ettemu nebirala byagambye nti bimalawo eddembe lyabantu kwosa nokubasa ku bunkenke era agamba ni wasannye okubaawo ekikolebwa.
Omwami w’ eggombolola ya Mumyuka Kalungu, Vicent Nsimbe aloopye ebimu ku bibasoomoza okuli enguudo embi , omutindo gwebikozesebwa mu bulimi ogutatuukiridde nebiralala bygambye nti bikoze kinene okutambuza kasoobo enkulaakulana mu kitundu kyabwe.
Mubakiise embuga kubaddeko abakulembeze mu nzikiriza ezenjawulo , abaweereza mu gavumenti eyawakati , abaweereza mu Bwabakabaka okuli abatongole abaami b’emiruka n’abalala.









