
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggalawo omwaka 2022 era naggulirawo abantu be omwaka omuggya ogwa 2023 wakati mu kubasaba okwekuuma akawuka ka Mukenenya n’okukola ennyo bakulaakulane.
Omukolo guno Nnyinimu agukoledde mu Lubiri e Mmengo ku Lwomukaaga mu Nkuuka ya CBS Vimbaa ey’omwaka 2022 wakati mu Nnamungi w’omuntu akung’aanye okuva mu buli kasonda ka Buganda.
Mu bubaka bwe obusomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Omutanda asabye abantu be okwekuuma ennyo akawuka ka Mukenenya basobole era banyweze obumu olwo Buganda esobole okugenda mu maaso.

Beene atuuse ku ssaawa nga 11 ez’olweggulo era abadde awerekeddwako Nnaabagereka Sylivia Nagginda, Omulangira Richard Ssemakookiro, n’abakungu abawerako.
Omutanda olutudde ku Nnamulondo olwo olukontana olw’akamalirizo olw’ Entanda ya Buganda nelutandika wakati wa munnabuddu Buwemba Julius eyeddira Engo ne Nakana Jude eyeddira Ente nga bano bebayiseewo kwabo omukaaga abasobodde okuyitawo nebatuuka mu Lubiri.
Gyebigweredde nga Buwemba Julius awangudde Nakana Jude bwatyo nasitukira mu kyaa ky’ ettaka n’obukadde butaano era nafuna omukisa okwanjulwa mu maaso ga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka ng’ Omuzira mu Bazira w’omwaka 2022.

Ku lulwe Katikkiro Mayiga akulisizza Beene ne Nnaabagereka omwaka 2022 omulungi era ogw’emirembe era nasaba abantu okutambulira ku bubaka Nnyinimu bweyawa obw’omwaka bweba baagala okugenda mu maaso.
Ono asabye abantu okujjumbira enteekateeka za Buganda okuli okugaba omusaayi, okuwaayo Oluwalo, okulima emmwaanyi basobole okulwanyisa obwavu era basigale nga bali bumu basobole okulwanirira ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano omuli ne Federo.
Ku ssaawa 12 : 45, Omutanda akutte ekisumuluzo ekibadde kiwundiddwa obulungi naggulawo omwaka n’okubaagaliza ebirungi ebyerere wakati mu mizira okuva mu bantu be ababadde bakungaanye. Omutanda oluvannyuma asiibudde abantu be nadda mu Lubiri.

Wano abayimbi ab’ enjawulo omuli Vinka, Pallaso, Chameleone, Maureen Nantume, Aidah Muggo, John Blaq, Alimpa, Sheebah Kalungi n’abalala nebagenda mu maaso nokusanyusa abantu ba Kabaka.
Enkuuka y’ omulundi guno esitudde ebikonge eby’enjawulo omuli; Baminisita ba Kabaka, Akulira oludda oluvuganya Mathias Mpuuga, abakungu b’ebitongole, Abalangira n’Abambejja, Abataka, Abakiise mu Lukiiko lwa Buganda nga bakulembeddwamu Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek Patrick Luwaga Mugumbule n’Omumyukawe Oweek Ahmed Lwasa n’abakungu abalala.









