
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda busabye abakwasisa amateeka g’abantu abaliko obulemu okufuba okulaba nti gateekebwa mu nkola wasobole okubeerawo obwenkanya ku bantu ab’ekikula kino.
Okusaba kuno kukoleddwa minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Amawulire era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Noah Kiyimba bw’abadde ayogerako ne bannamawulire e Bulange Mmengo.

Minisita Kiyimba ategeezezza nti olunaku lw’omwaka guno, Beene yasiima lukuzibwe nga Decemba 14 wansi w’omulamwa ogugamba nti “Okutumbula Embeera z’Abaliko Obulemu mu Buganda”.
Owek. Kiyimba alaze obukulu bw’okusomesa abaana abaliko obulemu nakakasa nti basobola bulungi okubeera ab’omugaso era nebakola ebintu eby’omuwendo ebigasa ensi yabwe bwatyo nalabula abazadde abalemeddemu omuze gw’okukweka abaana mu nju olw’okuba baliko obulemu.
Ono annyonnyodde nti abaana bano basobola bulungi okusoma era nasaba abazadde abatalina busobozi okweyuna bbasale z’Obwakabaka basobole okuwa abaana bano ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.
Minisita Kiyimba asabye ebitongole ne kampuni ezigaba emirimu okulowooza ku ky’okuwa abaliko obulemu omukisa kuba bano balina ebitone ebyenjawulo nga abamu basobola bulungi okuvuganya n’abantu abataliiko bulemu ate nebabasinga.

Owek. Kiyimba era asabye abantu abaliko obulemu okusibwa ku mwanjo bwekituuka mu nsonga zebyobulamu , ebyenjigiriza ne bintu ebirala kubanga nabo balina eddembe okubifuna.
Omukiise wabaliko Obulemu mu lukiiko lwa Buganda Owek. Dr. Vincent Ssenabulya yeebaziza Obwakabaka olwokubassa ku mwanjo wabula nafalaasira abaliko obulemu okukozesa omukisa guno okukyuusa embeera yabwe.
Dr. Ssenabulya agamba nti newankubadde abaliko obulemu balina ebizibu eby’enjawulo ebyekuusa ku nkula yabwe, tebasaanidde kwekubagiza kuba baamukisa nnyo okuba abalamu, ate nga balina n’ebintu bingi bye bayinza okukola ne bibayamba okubeerawo.









