Bya Ssemakula John
Kampala
Omwogezi w’eggye lya UPDF, Brig Gen. Felix Kulaigye ategeezezza nga Sheikh Yahyah Mwanje eyakwatiddwa ennaku eziyise bwakuumirwa mu buduukulu bw’ekitongole ky’ amajje ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ki CMI.
Kulaigye agamba nti ono yakwatiddwa ku nsonga ezeekuusa ku by’okwerinda era mubwangu ajja kutegeeza eggwanga ezimu ku nsonga zino.
“Tumuteebereza okwenyigira mu nsonga z’ebyokwerinda, ebisingawo ku kino tugenda kubimanya,” Kulayigye bwe yagambye bannamawulire.
Kino kiddiridde okukwatibwa kwa Sheikh Mwanje ku Mmande bweyabadde ku muzikiti gw’Abatabuliki ogwa Salafiya abasawo ababadde mu ngoye ezabulijjo nebamuyingiza mu mmotoka Drone namba UBM 187E nga abadde tamanyiddwa gy’ali era okusooka ebitongole ebikuumaddembe byonna byabadde bifuuse kyesirikidde ku nsonga eno.
Eggulo, omwogezi w’Abatabuliki Siraje Kifampa yategeezezza nti Shiekh Mwanje bamukutte ku ssaawa 2 n’ekitundu ez’oku makya naye abamuwambye tebawadde nsonga yonna lwaki ono yakwatiddwa.
Nga tebanakwata Shiekh Mwanje, aba CMI basoose kukwata Sheikh Muhammad Buyondo amanyiddwa nga Matiya ne Abdul Wahab Ssendegeya nga bano bonna bavuzi ba booda booda ku ppaaka enkadde era nga basula Kyengera awamu ne Musa Ssekandi ow’e Masanafu mu Lubaga.
Guno si gwemulundi ogusoose nga Shiekh Mwanje akwatibwa, okusooka bamukwata mu Novemba 16, 2016 nga bamuvunaana okutta Maj. Muhammad Kiggundu ne ddereeva we Stephen Mukasa.
Yaddamu nakwatibwa mu Decemba wa 2016 ne Shiekh Buyondo nebamala emyaka 4 mu kkomera wabula nebayimbulwa ku kakalu ka kkooti nga 16 September, 2020.