
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Mwana muwala, Sydney Nabulya Kavuma, ow’e Kyaddondo, alangiriddwab ku bwa Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda obw’omwaka 2022 guno, oluvannyuma lw’okukira ku banne bwebavuganyiza okuva mu masaza 18.
Omukolo gubaddewo mu kiro ekikeesezza olwa leero mu bimuli bya Bulange, e Mengo, era nga Nnaabagereka Sylivia Nagginda, y’abadde omugenyi omukulu.
Bw’abadde akola omukolo guno, Nnaabagereka akubirizza abawala bano okwagala ennyo obuwangwa n’ennono zaabwe, ate basikirize abantu okujja okulambula ebintu bya Buganda.

Abakuutidde okusigala nga bawulize; b’amazima, ate nga bayonjo, kuba ezo ze zimu ku nnyingo z’obuntubulamu ezisomesebwa mu Kisaakaate.
Akiggumizza nti basaana okunyweza ebyo bye bayize mu bbanga lye bamaze nga bateeketeebwa kuba bijja kubayamba nnyo mu bulamu bwabwe awamu n’abantu baabwe.
Ye Omumyuka wa Katikkiro Asooka era Minisita Avunaanyizibwa ku Nzirukanya y’Emirimu ne Tekinologiiya, Oweek. Prof. Twaha Kaawaase, eyabaddewo ku lwa Katikkiro, yeebazizza nnyo Maama Nnabagereka olw’okuwaayo obudde n’abaawo ku mukolo, ate n’okulafuubana okulaba ng’emiti emito givaamu omulamwa.
Akulisizza abeetabye mu mpaka zino baagambye nti bonna abawanguzi olw’olwobuvumu bwe balaze okuvaayo okuvuganya.

Abasabye okukuuma empisa ennungi; okunyweza mikwano gyabwe; obuteegulumiza, ate n’okubeera ababaka ba Buganda ab’omugaso.
Asabye abazadde okuwagira abaana baabwe ku buvunaanyizibwa buno bwe bafunye.
Akiggumizza nti Obwakabaka bwa Buganda buzimbye erinnya lyabwo emyaka miyitirivu, nga n’olwekyo abo bonna abagenda okugikwatira bbendera balina okukuuma erinnya eryo obulungi.
Abeebazizza olw’obuyiiya bwe boolesezza n’abasaba okubweyambisa okubaako kye beekolera ekibagasa.
Ye Oweek. David Kyewalabye Male, Minisita w’Obuwangwa, Ennono, Obulambuzi n’Embiri, yeebazizza nnyo bonna abeetabye mu nteekateeka eno, ate n’Amasaza agaavuganyizza.

Omukolo gwetabiddwako: Omulamuzi Julia Ssebutinde, Oweek Lukwago Rashid, Omwami w’essaza ly’e Mawokota Kayima Gabriel Kabonge, Mmeeya wa Lubaga Zzachy Mbeeraze Mawula, Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board Victoria Kayaga, Ssenkulu wa Majestic Brands Remmie Kisaakye, Katikkiro wa Kisolo Edirisa Kitandwe, Omuk. Wilson Muzzanganda n’abalala bangi.









