
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Nnaabagereka Sylvia Nagginda Luswata asisinkanye omubaka w’ Amerika mu Uganda, Natalie Brown nebabaako ensonga enkulu zebateesaako.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu ng’era ebadde yakyama.
Okusinziira ku Muky. Susan Busuulwa Lubega abakulu bano boogedde ku nsonga eziyamba abaana, abakyala, abavubuka n’emirimu gy’Ekisaakaate.
Ono agamba nti Nnaabagereka ayanjulidde Omubaka Natalie ekittavvu ekiggya kye yatandiseewo ekya Nnabagereka Nagginda Women’s Fund, mwagenda okuyita okukungaanya obuyambi obw’okutaasa abaana, abakyala n’abavubuka, ku nsonga z’ebyenjigiriza, eby’obulamu, n’eby’enkulaakulana.
Muky. Busuulwa agambye nti enteekateeka bwe zinaaba ziwedde, ekitebe ky’Amerika mu Uganda kya kukwasizaako Nnaabagereka okuggusa obuvunaanyizibwa buno.
Ono annyonnyodde nti balina ekigendererwa eky’okukyusa endaba y’ebintu oluvannyuma lwa Ssennyiga Corona eyagootaanya eby’ebyenfuna mu ggwanga lyonna.
Ensisinkano yeetabiddwamu Ssaabawolereza wa Buganda era Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Christopher Bwanika.









