Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Ekitongole ekirwanyisa mukenenya mu nsi yonna ki UNAIDS kiwadde Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi, engule emwebaza olw’okulwanyisa ekirwadde kino mu Uganda ne Afirika nga ayita mu nteekateeka ez’enjawulo zateekawo okumanyisa abantu ku kirwadde kino.
Engule eno Omutanda emukwasiddwa akulira ekitongole kino mu nsi yonna, Winne Byanyima ku mukolo gw’emisinde gy’okujjukira amazaalibwa ga Kabaka ag’omwaka 2022 oguyindidde mu Lubiri e Mmengo ku Ssande.
Bw’abadde awaayo engule eno, Byanyima yeebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okutumbula eby’obulamu awamu n’okukola ennyo okulwanyisa ekirwadde kino nga buyita mu nteekateeka ez’enjawulo.
“Kulwa UNAIDS njagala okwebaza Kabaka n’Obwakabaka obukulemberwa Katikkiro Mayiga olw’okuwaayo emisinde gino kati emyaka 3 eri okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya era twebaza aba Airtel olw’okuvujjirira emisinde egyeetabamu abantu enkumu bwebati,” Byanyima bw’ategeezezza.
Emisinde gino gitambulidde wansi w’omulamwa, “Abaami tube basaale okulwanyisa Mukenenya, tutaase abaana ab’obuwala, ‘ era mu nteekateeka eno Omutanda ayagala omwaka 2022 wegunatuukira nga obulwadde buno bufuuse lufumo.
Kinajjukirwa nti Omuteregga yalondebwa ekitongole kino era nasiima okukulemberamu olutabaalo ku mukenenya ng’ emunyeenye ya Afirika yonna ku nsonga eno.