Bya Francis Ndugwa
Bulange Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii asiimye naawa banna Rotary be Nansana awamu ne Munisipaali ye Nansana ettaka bazimbeko eddwaliro eriri ku mutendera gwa Health Centre IV kiyambe okutumbula eby’obulamu mu kitundu kino.
Ekyapa ky’ettaka lino kibakwasiddwa Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa kulwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.
“Nina essanyu okubategeeza nti nga tuyita mu Buganda Land Board enteekateeka yonna yawedde era ekyapa nga bwekyetaagisa mu mateeka nti gavumenti okutongoza eddwaliro lino wadde ligenda kuzimbibwa Rotary kirina kuba mu mannya ga Nansana Municipal Council era kyamaze okukolebwa nekizzibwa mu mannya go era olwa leero ngenda kukibakwasa,” Owek. Nsibirwa bw’agambye.
Owek. Nsibirwa ategeezezza nti wadde ettaka lino liri mu kifo ky’ennono ky’embuga ya Nakuule naye embuga eno yasigaddewo ate nga ne woofiisi za Buganda Landa Board zisigaddewo ku mbuga eno
Ono annyonnyodde nti abantu beeyongedde mu Nansana ate n’enkulaakulana nayo ebadde ezze nga Buganda ebadde erina okukwatizaako gavumenti okutumbula embeera z’abantu mu by’obulamu n’ebyenfuna.
Owek. Nsibiirwa agamba nti Buganda erina omukago ne Rotary nga wakati mu bwesimbu n’okubeera nti tebasosola mu bantu kyali kyangu okukwatagana nabo okuteekawo enteekateeka eno era nalabula nti singa likozesebwa ku nsonga endala lyakuddira Obwakabaka.
Owek. Nsibirwa era annyonyodde nti Beene yagenderera kutuusa bujanjabi obutuukiridde era obwomutindo ku bantu be Nansana nebitundu ebiriranyeewo abali mu bwetaavu bwabwo .
Ye Pulezidenti wa Rotary y’e Nansana, Rebecca Namirembe annyonnyodde nti ensonga eno etuukira bulungi ku misingi Rotary kweyazimbibwa nti bakukola ekisoboka okuggusa omulimu guno kubanga gwakuyamba bangi .
Ettaka eriweereddwayo lisangibwa Nakuule mu munisipaali ye Nansana nga lisuubirwa okumalawo obuwumbi 5 billion era lisuubirwa okumala emyaka 5 nga lizimbibwa.