• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Akakiiko k’ebyokulonda kagamba Kyagulanyi ye Pulezidenti wa NUP gwekamanyi

Gambuuze by Gambuuze
June 22, 2022
in Amawulire
0 0
0
Akakiiko k’ebyokulonda kagamba Kyagulanyi ye Pulezidenti wa NUP gwekamanyi
0
SHARES
64
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Akakiiko k’ebyokulonda katangaazizza ku biwayi ebibiri ebyetemyemu mu kibiina ki National Unity Platform (NUP) nekakasa nti Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine ye mukulembeze omutuufu gwebamanyi.

Kino kiddiridde Moses Nkonge Kibalama okuteekawo ekiwayi ekikye nakiteera amakanda e Kabowa okwawukana ku kya Bobi Wine e Kamwokya nga agamba nti bano baava ku ndagaano gyebakola era  enebayisa olugaayu mu ssemateeka w’ekibiina.

Kibalama ne banne bannyonnyodde nti  obwerufu bubabuze mu bukulembeze bwe Kamwokya, era wano webasinziira nebategeka Ttabamiruka w’ekibiina eyasalawo bakole ekitebe kyabwe e Kabowa mu Lubaga.

Ekiwandiiko ekifulumiziddwa akakiiko k’ebyokulonda nga June 22, 2022 eri Kibalama ne Paul Ssimbwa nga bonna bammemba ba NUP wamu ne Ssaabawandiisi w’ekiwayi kino Leonard Mulekwah nekakakasa nti Kyagulanyi ye mukulembeze omutuufu gwebamanyi.

Akakiiko k’ebyokulonda  era kajjukiza Mulekwah ne Kibalama ebbaluwa gyebakawandikira nga bakategeeza nga bwebalekulidde ebifo byabwe mu kakiiko k’ekibiina ak’okuntikko nebabikwasa Robert Kyagulanyi Ssentamu ne banne.

Abakulira akakiikp kano era bagamba nti tebanafuna kiwandiiko kyonna mu butongole okuva mu kakiiko akafuzi ak’ekibiina nga kalaga nga Kyagulanyi bwalekuliddde  ekifo kye awamu ne babadde akulembera nabo nga Kibalama ne banne bwe bagamba.

“ Tewali kiwandiiko kyonna mubutongole kyetwafunye nga kiraga okulekulira oba okukyuusa woofiisi oba obukulembeze nga ennyingo nnamba  6.2 (c) (i) eya Ssemateeka w’ekibiina bwegamba kuba omuntu emuwa emyka 5, ”  Abakakiiko bwebagasseeko.

Era bano Kibalama ne banne babawadde amagezi bwebaba baagala okukyuusa obukulembeze bategeke Ttabamiruka nga bagoberera okulambika kwa Ssemateeka w’ekibiina.

Share this:

Tags: Bobi WineElectoral CommissionMoses KibalamaNational Unity Platform (NUP)Robert Kyagulanyi Ssentamu
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist