
Bya Ssemakula John
Naalya – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda busaasidde Minisita omubeezi owa Tekinologiya n’ensonga z’amawulire Owek. Joyce Juliet Ssebuggwawo Nabbosa eyafiiriddwa mutabani we Ssaalongo Ronald Bunkeddeko eyafa ku Lwomukaaga lwa Sabiiti ewedde.
Eggulo ku Mmande, Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Hajji Twaha Kaawaase Kigongo, yatutteyo obubaka nasaasira ab’enju eno.
“Bulijjo tusuubira nti abaana be bandibadde baziika bakadde babwe era bwetusaba, kibeera kya ntiisa nnyo omuzadde okutunula mu ntaana y’omwana lwakuba nti omwana omubaamu n’essuubi ddene nnyo. Kibadde kisaana era nga kigwanidde okujja okubabudaabuda,” Owek, Kaawaase bwe yagambye.

Owek. Kaawaase yategeezezza abakungubazi nga famire eno bweri enkulu ennyo mu Buganda nga Minisita Nabbosa awamu ne Nnaabagereka Sylvia Nagginda bakoze ennyo okuzimba abavubuka mu Buganda ne Uganda.
Omugenzi ssalongo Bunkeddeko Richard Ssebuggwawo, afiiridde ku myaka 40 era ng’omulambo gwe, leero ku Lwokubiri gugenda kusula mu maka ga bakadde, ku Lwokusatu ku makya wabeewo okusaba okw’okwebaza katonda olw’obulamu bwe mu lutikko e Namirembe n’oluvannyuma aziikibwe ku biggya bya bajjajja b’ e Nkumba mu Busiro.

Owek. Kaawaase mu kukubagiza kuno awerekeddwako Sipiika wa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, omwogezi w’Obwakabaka owek. Noah Kiyimba, Ssaabaganzi Emmanuel ssekitoleeko, Namasole Damalie Nantongo Muganzi n’abakungu abalala.









