Bya Ssemakula John
Kasana – Bulemeezi
Essaza lya Beene ery’e Bulemeezi liwuumye, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi bw’abadde alabiseeko eri Obuganda nga aggulawo empaka z’emipiira gy’Ebika bya Buganda ez’omwaka 2022 mu kisaawe kya Kasana Luweero mu Bulemeezi.
Obwedda buli Omutanda wayita nga abantu bakwatiridde ku makubo era obwedda Empologoma ewalirizibwa okuvaamu natambuza ku bigere nga bwababuuzaako n’okubawuubira, olwo essanyu nerijula okubatta.
Beene bwatuuse ku kisaawe e Kasana ayaniriziddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Twaha Kaawaase Kigongo ne Minisita Henry Ssekabembe Kiberu awamu n’abakungu abalala.
Ssaabasajja Kabaka awandiise ku mupiira ng’akabonero akakaga nti atongozza empaka zino era bwezityo empaka naziggulawo.
Oluvannyuma omupiira oguggulawo empaka zino, gutandise ku ssaawa 9 ez’olweggulo wakati wa bazzukulu ba Muteesaasira ab’eddira Engo nab’eddira Engo wakati mu bawagizi ababaddewo okubugiriza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.
Wasooseewo omupiira gw’okubaka wakati w’Engo n’ Embwa nga guno guwanguddwa bazzukulu ba Mutasingwa ab’eddira Embwa ku ggoolo.
Empaka zino zibadde zimaze emyaka 2 nga tezizanyibwa olw’omuggalo gwa Covid-19, zaasemba okuzannyibwa mu 2019 zaawangulwa Embogo, ate Ennyonyi Ennyange n’ewangula engabo y’okubaka.
Omukolo guno gwetabiddwako bajjajja abataka abakulu ab’Obusolya, baminisita mu Bwakabaka bwa Buganda , abakungu n’abantu ab’enjawulo .