• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Abalowooza nti Buganda bagiziise mu 1966, basiga nsigo eyaddamu neemeruka- Omulangira Wasajja

Gambuuze by Gambuuze
May 24, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
Abalowooza nti Buganda bagiziise mu 1966, basiga nsigo eyaddamu neemeruka- Omulangira Wasajja
0
SHARES
75
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Namirembe – Kyaddondo

Omulangira David Kintu Wasajja ategeezezza nti Kawekene Apollo Milton Obote ne musajja we Idi Amin Dada bwebalumba Olubiri nga May 24,1966 balowooza nti Buganda bagiziise naye basiga nsigo ya Bwakabaka eyaddamu nemeruka.

“Bannaffe abaali balowooza nti batuziise naye ate basiga nsigo ey’Obwakabaka. Olunaku luno era lwa kweyanza Katonda ayisiza Buganda mu kusomooza okwo kwonna okwa 66 n’okutuusa kati. Twebaza Katonda olw’ obulamu bwawadde Ssaabasajja n’amaanyi n’obwesimbu okusobodde okuzzaawo Obwakabaka okutuusa webuli kaakati,” Omulangira Wasajja bw’agambye.

Bino Omulangira abyogeredde  mu lutikko e Namirembe  ku Lwokubiri mu kusaba okwenjawulo okwategekeddwawo okujjukira bwegiweze emyaka  56 bukya Olubiri lulumbibwa mu 1966.

Ono annyonnyodde nti omulimu gw’okuzzaawo Buganda tegubadde mwangu nga oluusi bazimbye waliwo abazimbulula naye olw’obuvumu bwa Ssaabasajja Kabaka wabaddewo essuubi n’essanyu nga y’ensonga lwaki abantu basobola okweyagalira mu Buganda ya leero.

Omulangira Wasajja ategeezezza nga bwe beeyanza era nokujjukira abantu abafiira mu lubiri nga bakola buli ekisoboka okutaasa obulamu bwa Ssekabaka Edward Muteesa II awamu nabo abakola kyonna okumulabirira nga ali mu buwang’anguse.

Wasajja asabye abaana abato basembezebwe ku mwanjo basobole  okuyiga ennono n’obuwangwa era baagale  Obwakabaka ne Ssaabasajja Kabaka kuba bebagenda okukuuma n’okutaasa Nnamulondo awamu n’okuzimba Buganda ey’enkya.

Akuutidde abazadde n’abakulembeze okusobola okuyingiza abaana bano mu bibiina nga Nkobazambogo kuba bajja kubaamu omwoyo gw’eggwanga awamu n’ ensa ebibula mu bakulembeze abaliwo ensangi zino.

“Tusaanye abaana okubateekamu  omutima gwa Buganda ogutafa kuba gwe gututuusizza wano. Tusaanye  okubamanyisa nti Ssaabasajja ye kitaffe era bakole kyonna kyebasobola okumukuuma era bafune obusungu bwebalaba oyo yenna agezaako okutabangula oba okuyiikiriza Ssaabasajja, ” Omulangira Wasajja bw’annyonnyodde.

Mu bubaka bwe, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ategeezeza nti nga abantu ba Buganda bajjukira obulumbaganyi ku Lubiri,  basaana okukuuma obumu,  basobole okufuna amaanyi okuyita mu byonna ebibasoomooza ensangi zino n’obuwanguzi.

Owek. Mayiga agasseeko nti Buganda tesaana kubeera mu kwekubagiza kubanga Kabaka kwali ku Nnamulondo,  nasaba bannyikire  okuzzaawo ekitiibwa kya Buganda mu mulembe guno Omutebi.

Omukolo gw’okusaba gwakulembeddwa Venerable Canon Jonathan Kisawuzi nga gwetabiddwako, Omulangira Daudi Golooba, Ssaabalangira Godfrey Musanje, Ba Katikkiro abaawummula, Oweek Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Oweek Dan Muliika, Baminisita ba Kabaka, Oweek Noah Kiyimba, Oweek David Kyewalabye Male, awamu n’abakungu abalala.

Share this:

Tags: Ba Katikkiro abaawummulaBaminisita ba KabakaOmulangira Daudi GoloobaOweek Dan MuliikaOweek David Kyewalabye MaleOweek Joseph Mulwanyammuli SsemwogerereOweek Noah KiyimbaSsaabalangira Godfrey Musanje
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.