• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Gen Muntu asabye Muhoozi asooke awummule amagye bwaba ayagala okwenyigira mu by’obufuzi

Gambuuze by Gambuuze
May 10, 2022
in Amawulire
0 0
0
Gen Muntu asabye Muhoozi asooke awummule amagye bwaba ayagala okwenyigira mu by’obufuzi
0
SHARES
47
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Akulira ekibiina ki  Alliance for National Transformation(ANT) Gen Mugisha Muntu, asabye omuduumizi w’amagye g’oku ttaka Lt Gen Muhoozi Kainerugaba era mutabani wa Pulezidenti Museveni,  awummule amagye bwaba ayagala okusigaza ekitibwa kye olwo ayingire eby’obufuzi.

Muntu okwogera bino abadde  ayogerako eri bannamawulire ku bubaga bwa Gen. Muhoozi obutambuzibwa mu bitundu by’eggwanga n’obubaka obulaga nti agenda kwesimbawo mu 2026, Muntu amulabudde okutazannyira ku magye kuba gabatwalidde ebbanga okuzimba.

“Njagala okusaba Omuduumizi w’amagye g’oku ttaka okuwummula amagye okutwala eby’obufuzi bye mu maaso. Wadde alina eddembe okukola kino naye ate yunifoomu y’amagye erina okusigaza ekitiibwa kyaayo,” Gen. Muntu bwe yannyonnyodde.

Kino kiddiridde Gen. Muhoozi okutegeka obubaga obumuyozaayoza  okuweza emyaka 48 mu bitundu eby’enjawulo nga obubaga obukulu bwali Kololo ne mu maka g’Obwapulezidenti.

Abakugu  bagamba nti ebikujjuko bino byagendereddwamu okutongoza  ‘Muhoozi Project’ bannayuganda gyebaludde nga boogerako nga Museveni ayagala mutabani we Muhoozi yaba amusikira ku bwapulezidenti.

Okusinziira ku Muntu eggye lya NRA/ UPDF lyazimbibwa mu kwelekereza nokuyiwa omusaayi nga teryetaaga kutambuzibwa mu ngeri Muhoozi gyakolamu ebintu.

“Tukwaniriza mu by’obufuzi naye sooka oyambulemu Yunifoomu yaffe,” Muntu bwe yakaatiriza.

Abamu ku batunuulizi b’ensonga bagamba ekya Muhoozi okulangirira nga bwajja okuvuganya ku bwapulezidenti mu 2026 kikontana ne ssemateeka awamu n’etteeka erifuga eggye lya UPDF ekigaana abajaasi okwenyigira mu by’obufuzi ebyawulayawula mu bantu.

Bino webijjidde nga , Gawaya Tegulle yaddukidde mu kkooti etaputa ssemateeka nga asaba erung’amye ku nsonga eno eya Muhoozi okwenyigira mu by’obufuzi ate nga akyali mu magye.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist