
Bya Francis Ndugwa
Kampala
Omugagga Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham wadde yali asuubizza nga bwe yeesonyiwe ettaka lya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka eriweza yiika 140 erisangibwa e Kigo okuliraana ennyumba za Mirembe Villas asitudde buto enkundi nga agamba nti ettaka lino lirye so si lya Kabaka.
Kiggundu kati apangisizza munnamateeka omukugu, Fred Muwema amuyambeko okutabaala embuga z’amateeka afune ettaka lino.
Muwema yatandika nakuwandiika bbaluwa ez’enjawulo nga alaba obwetaavu bwa Ham nga ayitira mu kampuni ya KIHAM Enterprises Ltd. okukozesa ettaka lino mu mbeera yonna wadde yali ategeezezza bannamawulire nga bwe yeesonyiye ettaka lino kuba musajja muganda atasobola kuteekawo lukonko wakati we ne Buganda.
Era oluvannyuma lw’okulayira bwati bannamateeka b’ Obwakabaka nga bayita mu K&K Advocates ne Sebalu Lule Advocates, bawandiikira Kamisona akulira eby’okuwandiisa ettaka John Karuhanga nga basaba ebyapa Ham byeyali afunye ku ttaka lino bisazibwemu.
Bwatyo Kamisona yayita olukiiko ku Lwokutaano oluwedde ku kitebe kya Minisitule y’ebyettaka era Buganda yakiikirirwa Usaama Sebuufu, Bashir Kizito J, Edward Mukwaya, James Sebugenyi Mukasa, Tendo Lubwama ne Daniel Ssenyomo.
Hamis Kiggundu yajja ne banne okuli; Edward Nakibinge, Anthony Tomusange, William Matovu (eyali akola ne UNRA), Doreen Naiga ne Gilbert Simo Kasozi akolera ku disitulikiti e Wakiso.
Bano babadde bakulembeddwamu munnamateeka Muwema era nebawakanya eky’okusazaamu ekyapa kino ekintu ekikontana nebigambo byeyayogerera e Bulange nti yeesonyiye eby’ettaka lino.
Kino kitabudde buto abantu ba Kabaka nebaddamu okwogerera Ham amafuukule nga bamulumiriza okulumba Obwakabaka n’okuvoola ekitibwa kya Nnamulondo nga bagamba nti tewali ngeri omusajja omuganda nga Ham bwatandika kukaayanira ttaka lya Kabaka lyamanyi obulungi nti sirirye.









