
Bya Ssemakula John
Makerere –
Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza emirimu gyeyali Katikkiro Martin Luther Nsibirwa olw’okwagaliza eggwanga mu kisaawe ky’ ebyenjigiriza nga awaayo ettaka okwazimbibwa settendekero wa Makerere asitudde ennyo ebyenjigiriza mu ggwanga n’ensi yonna.
Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde ku settendekero wa Makerere ku Lwokutaano ku mukolo gw’okujjukira Nsibirwa wakati nga Ssettendekero ono yeetegekera okujaguza emyaka 100 bukya litandikibwawo nga yasoose kulambula ennyumba Ssekabaka Muteesa II mweyabeeranga nga kati yafuuliddwa ekkadiyizo.
” Mu July 1945 Nsibirwa yaddamu okulondebwa nga Katikkiro. Ssekabaka Daudi Chwa bweyalaba nga anaatera okuggya omukono mu ngabo yalaamira Katikkiro Nsibirwa okulabirira mutabani we Edward Muteesa. Bwebagenda e Namakomo mu Kyaggwe okumunona addemu afuuke Katikkiro,

Nsibirwa yasooka kugaana kuba baali bamuyisizza bubi naye Ssekabaka Muteesa namujjukiza ekisuubizo kyeyawa kitaawe Daudi Chwa era nakkiriza okutwala Ddamula. Osanga singa teyakkiriza ddamula Makerere teyandibadde wano leero,” Owek. Mayiga bw’ annyonnyodde.
Okusinziira ku Owek. Mayiga, Nsibirwa yali katikkiro okutuuka mu 1941 lweyakakkibwa okulekulira olw’okukkiriza Nnamasole era Nnaabagereka wa Ssekabaka Daudi Chwa okuddamu okufumbirwa Peter Kigozi. Nasikizibwa Samwiri Wamala naye teyawangalako naggyibwako olwo Nsibirwa naddamu okubeera Katikkiro naye nattibwa mu myezi mitono.

Kamalabyonna Mayiga asabye abakulembeze okulabira ku Nsibirwa bakole ebiyambira abantu awamu kuba kino kye kisobola okutwala eggwanga mu maaso kuba okusinziira ku byazuulwa Katikkiro Nsibirwa yattibwa lwakwongera kuwaayo ttaka okugaziya ettendekero lya Makerere College.
Owek. Mayiga asiimye abafamire yeyali Katikkiro Martin Luther Nsibirwa olw’okukuuma omukululo gwe okutuuka essaawa ya leero. Ono ategeezezza nti singa tekubadde kulafuubana kwabwe tewandibaddewo nsonga ekubaganyisa birowoozo okumujjukira
Owomumbuga Mayega era ategeezezza nti kya buvunanyizibwa nnyo abakulembeze okwettanira enkola y’ekisakaate eyamba ennyo okugunjula abakulembeze abalimu ensa nokukuza abaana nempisa.
Katikkiro atenderezza ssettendekero Makerere olwokuteekawo ekifo kyebyobulambuzi ekyabbulwamu Ssekabaka Muteesa nti Kano kabonero akalaga nti Muteesa ajjukirwa olwettoffaali lyeyateeka kubyenjiriza byeggwanga.
Ye muwala w’omugenzi Katikkiro Nsibirwa, Rhodah Nalweje kalema Nsibirwa yebazizza ssettendekero wa Makerere olw’okutegeka okujjukira omugenzi mu ngeri eno era namutenderaza olw’okwagaliza eggwanga lye libeere n’ebyenjigiriza ebiggumidde wadde nga ye yali teyasoma.

Kalema ategeezezza nti Nsibirwa ettaka okutudde ssettendekero Makerere yaliwaayo nga 4 September was 1945 kyokka nattibwa enkeera nga 5 September womwaka gwegumu kyokka ebirabwako e Makerere nga aboluganda bibanyiga ebiwundu nokuberabiza engeri Katikkiro Nsibirwa gyeyattibwamu.
Amyuka Cansala wa settendekero ono, Prof. Barnabas Nawangwe, atenderezza enkolagana eriwo wakati w’ Obwakabaka ne ssettendekero Makerere nti ebayambye nnyo okugenda mu maaso n’okugaziya ettendekero lino.
Prof. Nawangwe aloopedde Katikkiro bannakigwanyizi abasusse okwagala okubba ettaka lya ssettendekero era Katikkiro namusuubiza okuyimirirawo okulaba nga Makerere esigaza ettaka lyayo.
Katikkiro Nsibirwa yali Katikkiro wa Buganda era yattibwa nga ennaku zomwezi 5 mu September wa 1945 nga wakayita olunaku lumu lwokka nga awadde Makerere ettaka ekitegeeza nti nga ennaku zomwezi 5 omwezi gwa September omwaka guno gijja kuwera emyaka 77 kasookedde Katikkiro Nsibirwa attibwa nga Ono yakubwa masasi mubudde obwokumakya bweyali ava ku kanisa e Namirembe okusaba.
Omukolo guno gwetabiddwako Omumyuka Owokubiri owa katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, eyali Katikkiro Mulwanyamuli Ssemwogerere, Katikkiro eyawummula Owekitiibwa Dan Muliika, Omukubiriza w’Olukiiko lw’ Abataka, Minisita avunaanyizibwa ku mirimu egy’enkizo mu Buganda Owek. Daudi Mpanga, Minisita Noah Kiyimba, ababaka ba Palamenti awamu n’abakungu abalala.









