
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Akakiiko akateekebwa Obwakabaka okunoonyereza ku mivuyo egiri mu mipiira gy’ Amasaza kanjudde alipoota ku byekazudde awamu nekyo ekirina okukolebwa okukuuma empaka zino ku lukalu lw’ Afirika n’ensi yonna.
Akakiiko kano akakulirwa Sabiiti Muwanga kaalondebwa mu April 2020,nga besigama ku mivuyo egyaliwo mu mpaka za 2019 omwafiira n’omuwagizi mulamba.
Kinajjukirwa nti mu 2019 nga Buddu esamba Mawokota ku kisaawe e Mpigi gwalimu emivuyo era gyebyagwera ng’ omuwagizi aluguzeemu obulamu, era wano akakiiko akakulembera omuzannyo guno kateekawo akakiiko ak’enjawulo okunoonyereza ku mivuyo egilabikira mu mpaka zino nekiyinza okukolebwa okutaasa ekifaananyi kyazo.
Mu byanjuddwa mu alipoota eno ng’ebisoomooza kwekuli; ennamula y’omupiira ey’ekiboggwe, okubulankanya ssente mu masaza ag’enjawulo. Okuyingiza eby’obufuzi ebyawula mu nzirukanya ya ttiimu z’amasaza, abazannyi okugulirirwa, abakulembeze obuteewa kitiibwa awamu n’ebirala.
Alipoota erumiriza abamu ku baweereza b’ebitongole mu Bwakabaka okweyisa mu ngeri etasaanidde nga kino kituukira ddala wansi ku masaza ag’enjawulo.
Wabula ssentebe w’ akakiiko kano Muwanga ategeezezza nti ensonga zonna nga bwezivuddeyo zisobola bulungi okufunirwa eddagala okusobola okutaasa omuzannyo guno n’okukuza ebitone.
Bw’abadde ayaniriza alipoota eno Minisita avunaanyizibwa ku by’emizannyo n’okwewummuza Mu Buganda, Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, yeebaziza olukiiko ku kunoonyereza kuno n’omulimu gwonna kuba gwakolebwa mu budde bwa COVID-19.
Owek. Ssekabembe annyonnyodde nti ensonga zino zigenda kwongera okulondoolwa era zakukwatibwa n’obwegendereza okusobola okukuuma omutindo gw’ empaka zino.









