
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Ttiimu y’Obwakabaka bwa Buganda eyalondeddwa okuva mu Masaza ag’enjawulo egenda kuttunka ne ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes ku kisaawe kya Wakisha ku Lwokutaano ng’ennaku z’omwezi 15/04/2022 okwongera okutumbula omuzannyo gw’omupiira mu Ggwanga.
Kino kirangiriddwa Minisita w’Ebyemizannyo n’Okwewummuzaamu mu Bwakabaka Owek. Henry Ssekabembe Kiberu bwabadde atongoza ttiimu eno mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
“Waliwo enteekateeka y’okulaba nti Obwakabaka buvaayo ne ttiimu yaabwo entongole. waliwo ekibuuzo ekigamba nti bwemumala empaka z’amasaza ez’akamalirizo kiki ekiddako? Mu nteekateeka eno tukolagana n’atwala omupiira mu Ggwanga obutavuganya nabo naye okuyambako okujjuliriza amaanyi gebateekamu,” Minisita Ssekabembe bw’agambye.
Mu nteekateeka eno Obwakabaka bugenda kuleeta ttiimu ya bantu 25, abatendesi 2, ne Maneja wa ttiimu omu esobole okufuna omukisa oguzannya omupiira ogw’omukwano ne ttiimu y’Eggwanga eya Uganda Cranes.
Okusinziira ku Minisita Ssekabembe, omupiira guno gugenda guzannyibwa ku Lwokutaano ku ssaawa 10 ez’olweggulo ku Kisaawe kya Wakisha. Ono annyonnyodde nti ttiimu ya Buganda yamala dda okulondebwa era eteekeddwateekeddwa bulungi nga yaakuyingira enkambi olunaku lw’enkya.
Owek. Ssekabembe agamba nti abawagizi baweereddwa omukisa ogw’enjawulo okulaba omupiira guno ku bwerere okusobola okuzza obuganzi bwa ttiimu y’Eggwanga n’asaba abantu okuvaayo mu bungi okugiwagira.
Ono alaze nti waliwo n’enteekateeka endala ey’okusamba ttiimu z’obukulembeze bw’ennono obulala okusobola okuggyayo ebitone.
Eyalondeddwa okubeera Maneja wa ttiimu eno, Sulaiman Kiwanuka ategeezezza nti guno omukisa gwa maanyi ogumuweereddwa, era ajja kukola kyonna ekisoboka okulaba nti abazannyi bano 25 bakomawo n’obuwanguzi era basuubira okusula mu nkambi okumala ennaku 3 nnamba.
Ate omutendesi omukulu owa ttiimu eno, Richard Malinga agamba ebikolwa bye n’obukambwe bye biri nnyo mu mupiira era wakukola kyonna okulaba nti ttiimu y’Omutanda ewangula.
Abamu ku bazannyi abali mu ttiimu eno kuliko; abakwasi ba Ggoolo okuli Isaac Kwizera okuva e Buweekula, Mike Lutaaya okuva e Buddu, Tonny Atugonza owa Bulemeezi. Abazibizi kuliko Gideon Odong, Harunah Lukwago, Abdallah Ssentongo nga bonna b’e Buddu.
Abalala ye Kenneth Sekkoolya owa Bugerere, Godfrey Anjole ow’e Bulemeezi n’abazannyi abalala okuva e Kyaggwe, Mawokota ne Busiro.









