
Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda, Jacob Oboth Oboth akakasizza nti waakuvuganya ku bwasipiika bwa Palamenti y’e 11 ng’adda mu bigere bya Jacob Oulanyah.
Ekifo kino kyasigala kikalu oluvannyuma lwa Jacob Oulanyah okufiira mu kibuga Seattle mu ggwanga ly’Amerika era mu tteeka tewali mulimu gwonna guyinza kukolebwa mu Palamenti okutuusa ng’ekifo kya Sipiika kijjuziddwa.
Okulonda Sipiika kugenda kubaawo ku Lwokutaano luno nga Friday March 25, okusinziira ku nteekateeka eyafulumiziddwa.
Ku nsonga eno ababaka b’ekibiina kya NRM abagenda okuvuganya ku kifo kino basuubirwa okugenda ku kitebe leero ku Lwokubiri okusobola okuteekamu okusaba kwabwe.
Oboth Oboth ku Lwokubiri yagenze ku kakiiko k’ekibiina kya NRM nasaayo okusaba kwe nga ayagala ekibiina kimuwaddeko eddusu asobole okuvuganya ku kalulu kano.
Mu tteeka, baminisita tebasobola kuvuganya ku bwasipiika, akakiiko ak’okuntiko ak’ekibiina kya NRM, kaakusisinkana ku Lwokusatu n’Olwokuna okusalawo ani ekibiina gwe kinaasimbawo ku bukulu obwo.
Oboth Oboth ajjukirwa nnyo olw’okukubiriza akakiiko ka Palamenti ak’amateeka akaasemba ekkomo ku myaka liggyibwewo ku abo abeegwanyiza okwesimbawo ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2021 era ono agamba nti mwetegefu okutwala emirimu gya Oulanyah mu maaso.
“Jacob Oulanyah asobola okuba nti yafudde naye sigenda kukkiriza birooto bye by’abadde alina eri Palamenti ey’ e11 kufa wamu naye.” Oboth Oboth bw’ategeezezza.
Oboth Oboth asuubirwa okuvuganya ne Anita Among eyalaze edda nga bw’agenda okuvuganya ku kino. Abalala abagenda okuvuganya kuliko Theodore Ssekikubo ne Abdul Katuntu.









