
Bya Ssemakula John
Mbale
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party, Norbert Mao agamba nti asazeewo okukolagana n’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) yeesonyiwe aba National Unity Platform (NUP) ne Forum for Democratic Change (FDC) b’agamba nti baamulyamu olukwe.
Mao bw’abadde ayogerako eri abakulembeze ba DP e Mbale, abategeezezza nti kati akolagana ne NRM kuba alabye ng’esobola bulungi okubayamba okutuukiriza ekigendererwa kyabwe eky’ okukwata obuyinza.
Ono era annyonnyodde nga bw’agenda okutabaala eggwanga lyonna mu nteekateeka y’okuddamu okuzimba ekibiina mu bitundu ebyenjawulo.
Mao agamba nti emikago n’enkolagana ya Opozisoni tebirina makulu era abasinga bakolerera kusuula kibiina kya DP.
“FDC ne NUP babadde batugamba nti ffe bamu naye ate batwala abaakulembeze b’ekibiina kino mu kalulu akawedde nga tewakyali nsonga ya kweyisaako.” Mao bw’annyonnyodde.
Mao ataddewo obukkwakulizo aba NUP ne FDC bwe baba baagala okukolagana naye.
“Bwe baba aba NUP n’ebibiina ebirala baagala okukolagana naffe bajje ku mmeeza tutuule ku kiruubirirwa. Olwo tujja kukkaanya ku buvunaanyizibwa bwa buli omu. Bwetutyo bwe twayingira mu bizibu mu 1986 olwokubulwa kyet tukkaanyaako,” Mao bw’agasseeko.
Mu kaseera kano Mao agamba nti akolera wamu ne NRM kuba kisobola bulungi okuwangula obuyinza bwe bazze banoonya.
Enkolagana ya NRM, Mao agamba nti yavuddemu dda ebibala kuba yakkiriziganyiza naba NRM okuwagira munna DP, Gerald Siranda okukiika mu Palamenti ya East Afirika.
Kinajjukirwa nti waliwo abakulembeze ba DP abaava mu DP ne beesogga NUP era kino kyatabula Mao wamu n’abakulembeze ba NUP e Kamwokya era Mao abadde buli lukya alumba aba NUP.









