
Bya Francis NdugwaBulange – Mmengo
Obwakabaka buzzeemu okugema abantu ekirwadde kya Ssennyiga Corona okusobola okukuuma abantu ba Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nga balamu ng’enteekateeka eno eyindidde mu bimuli bya Bulange e Mmengo ku Lwokutaano nga yaakumala ennaku bbiri nnamba.
Enteekateeka eno etongezeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga agemeddwa akayiso ke akookusatu nga kano ke kongera obukuumi mu mubiri eri abo abagemebwa emirundi ebiri ate nga bali waggulu w’emyaka 50.
Mukuumaddamula Mayiga asinzidde wano n’akunga abantu okusoosowazanga ebyobulamu nga bettanira buli nteekateeka ezireetebwa basobole okwekuuma nga balamu olwo basobole okutumbula embeera zaabwe era bakulaakulane.
“Tulina enjawulo nnene nnyo wakati w’omuntu n’ekisolo. Ekisolo ky’okutale kiri ku bwakatonda ffe abantu tulina okutegeera ekituufu ekituyamba okutereeza obulamu bwaffe. Era nze ndowooza omuntu bwalagajjala nafa Katonda ajja kumubuuza. Lwaki mugendera ku bibooziboozi nga Ssaabasajja asise omukono gw’ekkanzu ne bamukuba empiso nga mulaba, Nnaabagereka ne Katikkiro ne bakola kye kimu ggwe n’olowooza nti b’onywa nabo amalwa be basinga okutegeera!” Katikkiro Mayiga bw’abuuzizza.
Katikkiro era awadde bannayuganda amagezi okukomya okutwalibwa amawulire amafu ku by’obulamu wabula beebuuze abasawo abakugu okunnyonnyoka.
Minisita w’ebyobulamu mu Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma ategeezezza nti abantu ba Kabaka bazze mu bungi nga tewali abawaliriza era ne yeebaza Obwakabaka olw’enteekateeka eno.
Ye akulira emirimu ku ddwaliro e Mmengo Godfrey Ssemanda akkaatirizza obukulu bw’okwegemesa era n’alambika ku ddoozi ya ‘Booster’ egemebwa eri abantu abakuze mu myaka era n’akakasa nti eddagala lino teririna bulabe nga bwe byogerwa.
Ate ye akulira ebyobulamu mu kitongole KCCA mu divizoni, Dr. Dennis Buluma yeebazizza Obwakabaka olw’amaanyi n’etoffaali bwe liteeka mu kutumbula ebyobulamu by’abantu era n’asaba abantu okwenyigira mu nteekateeka zino kubanga zaakubayamba.
Abamu ku bagemeddwa beebazizza Ssaabasajja okufaayo ku bantu ba bulijjo era ne bakubiriza n’abantu abalala okukozesa omukisa oguleeteddwa bakuume obulamu.
Okugema Ssennyiga corona wano mu bulange kwakumala ennaku bbiri nga kutandise leero olwo kukomekkerezebwe enkya ku Lwomukaaga.









