
Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi mu ggwanga erabudde abantu bonna okwerinda abazzi b’emisango abeerimbise mu kuvuga boodabooda naddala mu mbeera eno nga zakkiriziddwa okuddamu okukola ekiro.
Pulezidenti Museveni ku Ssande yategeezezza nti okutandika ne Mmande ku kafyu abaddewo ow’essaawa 12 aggyiddwawo era kati ababoodabooda bakkirizibwa okuddamu okukola kinawadda oluvannyuma lw’okumala emyaka 2 nga tebakkirizibwa kukola nnyo olw’okutangira ekirwadde kya Corona.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire leero ku Mmande, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti abantu balina okuba obulindaala kuba ababoodabooda bano abazzeemu okukola ekiro tebamaze kusunsulwa nga mu bo mulimu n’abamenyi b’amateeka.
“Tufunye embeera y’abamenyi b’amateeka okuyingira mu ba boodabooda era beenyigira mu bubbi, obutemu awamu n’okunyakula obusawo awamu n’okubba Pikipiki.” Enanga bw’annyonnyodde.
Enanga asabye abantu okwewala ababoodabooda abalina ennamba ezitalabika bulungi nabo abayimirirayimirira naddala ekiro awamu nabo ababeerako bannaabwe nga babawondera.
Enanga alabula nti abo ababeera babavaako emabega babeera bazzi bannaabwe bwe bakola ebikolobero nga babeera balinda kimu kufuna mukisa basobole okubaako gwe banyaga.
“Abantu balina okubeera abeegendereza ekiro. Bw’oba otambulira ku boodabooda fuba okulaba nti owa boodabooda akozesa amakubo g’omanyi, tomuganya kumala gayimirira kuba abamu ku bano beefuula Pikipiki zaabwe eziweddemu amafuta mulina okwegendereza.” Enanga bw’agambye.
Ono annyonnyodde nti waliwo akakodyo akapya nga bano bakyusakyusa ennamba zaabwe olwo ne batandika okuvuga abasaabaze olwo ekibinja kyabwe ne kibavaako emabega bwe batuuka mu kazikiza olwo ne banyaga.
Okusinziira ku Enanga abantu abawerako baloopye emisango ku poliisi nga balumiriza aba boodabooda okubabba ate abalala bafiiriddwa obulamu olw’abeefuula aba boodabooda.









