Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Bbanka enkulu mu ggwanga etegeezezza nti ssente zonna eziriko omukono gw’abadde Gavana Emmanuel Tumusiime Mutebile zikyakolera ddala bulungi era abantu bagende mu maaso n’okuzikwata nga bulijjo.
Kino kiddiridde amawulire okusaasaanira ku mutimbagano nga galaga nga ssente zonna eziriko omukono gwa Mutebile bwe zigenda okuggwaako mu bwangu era tezigenda kuddamu kukkirizibwa kubaako kye zigula.
Ekiwandiiko bbanka enkulu kye yafulumizza eggulo kiraga nti alipoota zino tezirina makulu era tezirina bukakafu bwonna kwe zeesigamiziddwa.
“Okukyusa omuntu ali mu kifo kya Gavana oba okufa kwe tekitegeeza nti ssente ezo zibeera tezikyakola.” Bbanka enkulu bwe yagambye.
Bbanka enkulu egamba nti enfaanana ya ssente zino, ebiziriko nga kwe kuli n’omukono gwa Gavana byakusigala nga bikola okutuusa bbanka enkulu lwe liraba nti byetaaga okukyusa kuba ye yokka erina obuyinza mu mateeka okukola kino.
“Abantu tubawa amagezi okwewala eng’ambo zino eziraga nti ssente okuli omukono gwa Gavana Mutebile zigenda kukoma okukola.” Ekiwandiiko bwe kiraze.
Uganda erina ssente z’empapula okulabikira omukono gwa Gavana okuli; 1,000, 2,000, 5,000, 10,000, 20,000 ne 50,000.