
Bya Ssemakula John
Nakawa – Kyaddondo
Omwami wa Kabaka agenda okumulamulirako eggombolola ya Mumyuka Nakawa Timothy Ssenfuma Basajjasubi, atuuziddwa olwaleero ku Lwokuna, n’akuutirwa okukulembera abantu b’Omutanda kyenkanyi awatali kusosola n’omu.
Omukolo guno gubadde ku ggombolola y’e Nakawa mu Kyaddondo nga Basajjasubi atuuziddwa eyakiikiridde Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu Joseph Kawuki era omwami w’essaza Bulemeezi Kkangaawo Ronald Mulondo.
Abaami ba Kabaka ab’enjawulo mu ssaza Kyaddondo babadde okujulira omukolo guno nga mu bano mubaddemu; abeemiruka, abatongole n’abakulembeze okuva mu gavumenti eyaawakati nga bakulembeddwamu Omubaka Ronald Balimwezo.
Bw’abadde atuuza omwami w’eggombolola eno, Timothy Basajjassubi, Kkangaawo Mulondo amusabye ate ng’abantu ba Kabaka mu kitundu kino era alwane okukyusa embeera y’obulamu bwabwe.
Wabula abakulu embeera ebasobedde oluvannyuma lw’okukitegeera nti omwami w’eggombolola Basajjassubi talina woofiisi w’alina kukolera mirimu era wano Kkangaawo alagidde Mmeeya Paul Mugambe okunoonyeza Omwami w’eggombolola w’agenda okukolera mu bwangu.
Omwami w’essaza Kyaddondo, Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa ategeezezza nti bagenda kwongera okuteekateeka emisomo okubangula abaami ba Kabaka, bamanye obuvunaanyizibwa bwabwe.
Mmeeya w’eggombolola y’e Nakawa, Paul Mugambe n’omwogezi Godfrey Luyombya bakakasizza nti bagenda okukola ekisoboka okulaba ng’omwami w’eggombolola Mumyuka Nakawa afuna woofiisi mw’anaddukanyiza emirimu gya Beene.
Ye Omwami w’eggombolola atuuziddwa Timothy Ssenfuma Basajjassubi yeeyamye okutuukiriza omulimu ogumukwasiddwa, ne yeebaza Ssaabasajja olw’okumussaamu obwesige.
Omubaka wa Nakawa mu Palamenti, Ronald Nsubuga Balimwezo ayanjulidde Kaggo bye basobodde okutuukako mu gggombolola eno omuli okugikuuma nga nnyonjo n’ebirala.









