
Bya Ssemakula John
Kabowa – Kyaddondo
Omutaka Kawuula Frank Lwembawo avunaanyizibwa ku kukuuma Olubiri lwa Mujaguzo nga muno mwe mubeera eng’oma za Mujaguzo asabye Obwakabaka okwongera ku ssente eziweebwayo okulabirira ebifo by’ennono kisobozese ababirabirira okutambuza obulungi emirimu.
Okusaba kuno Kawuula akukoze asisinkanye akakiiko akavunaanyizibwa ku by’Obuwangwa n’ennono mu lukiiko lwa Buganda abali ku mulimu gw’okulambula ebifo by’obuwangwa n’okulaba embeera mwebiri eggulo ku Lwokusatu.
Bano nga babadde bakulembeddwamu Minisita avunaanyizibwa ku nsonga eno, Owek. Kyewalabye Male balambuludde ebifo eby’enjawulo okwabadde n’ennyanja ya Kabaka, Olubiri lw’e Mmengo n’e Naggalabi okufuna ekifaananyi wakati nga Buganda yeetegekera okusoma embalirira yaayo ey’omwaka 2022 – 2023.
Kawula yannyonnyodde abakulu nga embiri zino okuli Mujaguzo ne Nnamanyonyi bwe zaalina ettaka eriweza yiika 40 wabula nga kati wasigaddewo kawugiro n’asaba wabeewo ekikolebwa.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyobulambuzi mu lukiiko, Owek. Geoffrey Kisuule Kironde yeebazizza emirimu egikolebwa minisitule eno newankubadde nga basanze okusoomoozebwa okwenjawulo.
Bano bawubyeko olubu lw’ekigere ku masiro e Kasubi okulaba emirimu bwegitambula naddala ku nnyumba muzibwazaalampanga. Owek. David Kyewalabye Male minisita atubuulidde nti emirimu gitambula bukwakku n’alambulula ku nsonga endala.
Enteekateeka eno era egendereddwamu okulaba ng’olukiiko olukulu lusalawo bulungi ng’Obwakabaka bw’eteekerateekera okukola embalira yomwaka 2022/2023.









