• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Gavumenti etondewo emirimu okutaasa obutonde –  Owek. Nkalubo

Gambuuze by Gambuuze
January 28, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
Gavumenti etondewo emirimu okutaasa obutonde –  Owek. Nkalubo
0
SHARES
61
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis  Ndugwa

Bulange – M’mengo

Minisita w’ebyettaka n’obutonde bw’ensi mu Buganda, Owek. Hajjati Mariam  Nkalubo Mayanja asabye gavumenti emalewo ekizibu ky’ebbula ly’emirimu kiyambeko okukendeeza ku misinde abantu gye basaanyizaawo obutonde nga beekwasa obwavu.

Okusaba kuno  Owek. Nkalubo akukoledde mu nsisinkano gy’abaddemu n’ekitongole ky’ebibira ne Minisitule y’amazzi mu Gavumenti eyaawakati nga babadde ku mbuga enkulu e Bulange -Mmengo nga bateesa ku nnongoosereza ezigenda okukolebwa mu tteeka ly’ebibira erya 2001 (Uganda Forest Policy 2001).

Kinajjukirwa nti mu mwaka oguwedde Gavumenti ya Kabaka yatta omukago ne Minisitule y’amazzi n’obutonde mu gavumenti eyaawakati okulaba engeri gye basobola okutaasaamu obutonde.

Owek.  Nkalubo  era  asabye Gavumenti okwongera okumyumyula ku mateeka  ku kutyoboola obutonde bw’ensi  ky’agambye nti  mpagi n nene  mu lutalo lw’okukuuma obutonde  eggwanga ligende mu maaso.

Ate Minisita omubeezi ow’ebyobulimi, Owek. Martin Kaseekende asabye Gavumenti ekulembeze  abakulembeze b’ennono n’obuwangwa  kubanga bano bawulirwa nnyo abantu baabwe.

Amyuka Kamisona mu Minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi, Isa Katwesige agamba nti kino kye kiseera okukola ennongosereza essibwemu obuwaayiro obw’okutaasa obutonde okusinziira ku nsi nga bw’etambula .

Katwesige ategeezeza nti  kaweefube  w’okutaasa obutonde  baakumutandika na kusimba miti n’okubangula bannayuganda ku bukulu bwabwo.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu ababaka mu Lukiiko lwa Buganda, bammeeya mu bitundu ebyenjawulo, abaami b’eggombolola ez’enjawulo  n’abakungu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist