
Bya Ssemakula John
Lubaga – Kyaddondo
Omukubiriza w’olukiiko lw’abataka aboobusolya era akulira ekika ky’Ekkobe, Omutaka Augustine Mutumba Kizito asabye Abaganda yonna gye bali okwongera okunyweza ennono n’obuwangwa mu bika eby’enjawulo kubanga eno y’engeri enyangu ey’okuzza Buganda ku ntikko.
Okwogera bino abadde ku mukolo ogw’okuggalawo empaka ez’ennono n’obuwangwa mu bazzukulu ba Walusimbi mwe bavuganyirizza mu nsonga ezikwata ku lulimi Oluganda n’ensonga ezikwata ku Buganda, empaka zino ziyindidde ku wooteeri Pope Paul wano mu Kampala ku Lwokuna.
Era Namwama asabye bajjajja abakulira ebika ebyenjawulo okutandika ennono ey’okuwandiika bwino akwata ku nsonga z’ebika kiyambeko abanaddawo okumanya akawonvu n’akagga ku nsonga z’ebika n’okukoppa omulembe guno ogwa tekinologiya okutereka ebyafaayo.
Empaka zino abazzukulu bazeetabyemu nga bayita mu nnyumba ezagunjibwawo mu kika ky’Effumbe. Wabula ku mulundi guno zibaddemu abantu batono olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona era abasinga bazigoberedde bayita ku mutimbagano.

Gye ziggweeredde ng’ennyumba musanvu okuli; Ssennoga ne Nannozi , Kaweesa ne Nakaweesa, Kigozi ne Nangonzi n’abalala be bafunye omukisa okuddamu ebibuuzo wakati mu maaso ga Jjajjaabwe Omutaka Mbiro Zankya Yusufu Kigumba Makubuya II.
Oluvannyuma lw’okumeggana, ennyumba eya Ssennoga ne Nannozi ewangudde empaka zino n’obugaba 70 era nesitukira mu kirabo eky’obukadde 4, eddiriddwa eya Kigozi efunye obubonero 32 n’efuna obukadde 2 so nga waliwo n’ennyumba eya Kimuli egobeddwa mu mpaka oluvannyuma lw’okukozesa omuzzukulu abadde atali wa Ffumbe.
Omukolo guno gwetabiddwako n’omwami wa Kabaka atwala essaza Kyaddondo, Agnes Nakibirige Ssempa ne jjajja akulira ekika Ky’Engeye, Omutaka Shiba Kasujja Kyesimba owoomunaana.
Bo abazzukulu abeetabye mu mpaka zino bagambye zibayambye okwongera ku bukugu naddala mu nsonga zonna eza Buganda.









