Bya Ssemakula John
Kampala
Abakulira abasawo ku ddaala lya dokita abali mu kugezesebwa ku Ssetendekero wa Makerere, baweze okwekalakaasa olunaku olw’enkya singa Minisitule y’ebyobulamu tesazaamu kiwandiiko kibayimiriza era ekibagoba mu malwaliro gye babadde bakolera.
Akulira abayizi, Shamim Nambasa agamba nti bakooye omuze gwa Gavumenti ogw’okukozesa abantu ate n’ebasuulawo, ayongerako nti abayizi bano Minisitule bw’ebagoba bayinza obutafuna bbaluwa zibakkiriza kukola busawo olwo babeere nga basomedde bwereere.
Kati bano bawadde nsalessale wa ssaawa 24 nga gavumenti yeefukuludde ku kiwandiiko ekibagoba mu malwaliro oba si ekyo, baakukunga bannaabwe abali wansi nabo babeegatteko.
Abasawo bano bagamba nti embeera gye bayitamu nzibu nnyo ng’emitwalo 75 egibaweebwa mitono nnyo nga tegibamala kwebeezaawo kubanga nabo babeera basawo bennyini.
Bakukkulumidde Minisita w’ebyamawulire, tekinogiya n’okulung’amya eggwanga, Dr. Chris Balyomunsi olw’okubasuulirira kyokka nga bye bayitamu abimanyi bulungi.
Wabula ye Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Acenge gwe tufunidde ku lukomo lw’essimu, atutegeezezza nti ekitongole ky’ebyobulamu tekirina kye kifiirwa kubanga abasawo bano tebannakakasibwa era eky’okujjanjaba abantu kiyamba bo ng’abantu.
Kinajjukirwa nti Omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni yasuubiza okwongeza abasawo bano ensimbi okuva ku mitwalo 75 okutuuka ku bukadde 2.5, ensimbi omusawo ali ku Gavumenti era eyakakasibwa z’afuna.