• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obuwangwa

Minisita Kyewalabye alabudde abalung’amya b’emikolo ku kwekkiriranya

Gambuuze by Gambuuze
December 9, 2021
in Eby'obuwangwa
0 0
0
Minisita Kyewalabye alabudde abalung’amya b’emikolo ku kwekkiriranya
0
SHARES
96
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Lubiri – Mmengo

Minisita w’ebyobuwangwa, ennono, obulambuzi, embiri, olulimi n’ebyokwerinda mu Buganda, Owek. David Kyewalabye Male alabudde abalung’amya b’emikolo ku kwekkiriranya nga bakola emirimu gyabwe.

Bino Minisita  Kyewalabye abyogeredde mu musomo gw’ennaku ebiri ogw’okubangula abalung’amya bano oguyindidde mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu.

“Obwakabaka bumanyi amaanyi n’obusobozi bwammwe, kubanga muwaniridde Oluganda n’ekitiibwa kya Buganda nga tewali  abatendese nga mukikola ku lwammwe. Naye bwe wabaawo ebitatambula bulungi, kitukakatako ng’Obwakabaka okuvaayo okubalambika”. Oweek. Kyewalabye ayongedde okukkaayiriza obwetaavu bw’okusomesa aboogezi ku mulimu gwabwe.

Owek. Male agamba nti kino kye kivuddeko okuweebuula ennono mu mikolo gy’okwanjula ekittattanye ekitiibwa kya Buganda wadde ng’abalung’amya bano oluusi ekituufu babeera bakimanyi.

Minisita Kyewalabye annyonnyodde nti bano okubabangulira munda mu Lubiri baagadde okubalaga obukulu bw’amaka mu Buganda n’abasaba emikolo gino okugikola  nga bagenderedde okuyimusa amaka n’okugatandika mu mikolo gy’okukyala awamu n’okwanjulwa.

Ono agasseeko nti ebintu bikyuse nnyo mu kwanjula  era tebagenda kulwanyisa nkyukakyuka wabula obuwangwa n’ennono birina okubeera ku mwanjo wakati w’ensi enkulaakulana ne Tekinologiya.

Abakuutidde okubeera abamalirivu era bekkiririzeemu kibayambe obutabawambibwako buyinza bwabwe okuva eri abo ababeera babayise okugirung’amya.

Owek. Male era asinzidde wano natongoza akakiiko akagenda okutegeka okulonda kw’abalung’amya b’emikolo mu Buganda nga kano kagenda kulirwa  Rev. Elijah Kyobe.

Abalung’amya emikolo gino nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe, Hannington Ssonko Ssembatya, beeyamye okutambuliza ennono n’obuwangwa ku mwanjo nga bakola emirimu gyabwe okusobola okuzza ekitiibwa kya Buganda.

Beeyamye  okutereeza omulimu gwabwe awamu n’okulambika amaka gye babeera balaze okwongera okutumbula ekitiibwa kya Buganda.

Era basabye omusomo guno gubeewo buli mwaka ku lw’obulungi bw’omulimu gwabwe, kiyambe okwongera okubalung’amya.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist