
Bya Ssemakula John
Katwe – Kyaddondo
Ebbugumu lyeyongedde mu kutunda emijoozi gy’emisinde gy’Amazaalibwa ga Ssaabasajja era abantu b’Omutanda mu kitundu ky’e Makindye n’akatale ka Ssaabasajja ak’e Katwe be beetabye mu nteekateeka eno.
Mu nteekateeka ekuliddwamu BBS Terefayina, abantu ba Kabaka mu butale okuli; Bwayise, Nakulabye n’ebitundu okuli Ndeeba ne Katwe, baguze obujoozi buno kumpi ku bumalawo.
Bano basiimye Omutanda olw’okutumbula embeera z’ebyobulamu bw’abantu ng’ayita mu nsisira z’ebyobulamu kw’ossa n’enteekateeka ey’emisinde nga buli mwaka abaako ekirwadde ky’asiima okulwanyisa.
Ssentebe w’akatale k’e Katwe, Ssenkungu Levis y’akwasiddwa emijoozi okukulemberamu omulimu gw’okugitunda mu basuubuzi okulaba ng’ekigendererwa ky’emisinde gino kigguka bulungi, bw’atyo asabye abasuubuzi okujjumbira enteekateeka eno.
Akulira entambuza y’emirimu ku ttiivi y’Obwakabaka eya BBS Terefayina, Steven Dunstan Busuulwa agamba nti batandise kaweefube w’okusembereza abantu emijoozi mu bitundu byabwe, era waakugendera ddala mu maaso okutuukira ddala ku lunaku olwa 28 emisinde lwe ginaabeerayo.
Kinajjukirwa nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yawaayo emisinde gino okwongera okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Abaami tubeere basaale okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya tutaase abaana aboobuwala.”









