Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omusumba w’obusumba bwa Aliwal mu ggwanga lya South Africa, Omusumba Joseph Kizito agenyiwaddeko ku mbuga y’Obwakabaka e Bulange -Mmengo n’asisinkana Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiiya n’enzirukanya y’emirimu, Assoc. Prof. Oweek Twaha Kigongo Kaawaase.
Omusumba Kizito agamba nti agenda n’asuubiza nga bw’agenda okwagasiza abantu ba Kabaka abali South Africa Obwakabaka bwabwe ne yeebaza Kamalabyona olw’emirimu gy’akolera Obuganda era n’okutumbula embeera z’abantu ba Kabaka.
Omusumba Joseph Mary Kizito yalondebwa okubeera omusumba w’obusumba bwe Aliwal mu ggwanga lya South Africa mu mwaka gwa 2019 era ono akulembeddwa, abataka mu kika ky’effumbe mwava.
Ono agambye nti ekimuleese e Mmengo kwebaza Ssaabasajja Kabaka olwokulembera obulungi abantu be awamu n’okubakulaakulanya.
Omusumba Kizito aweze okufuuka olutindo olugatta bannayuganda abali mu ggwanga lya South Africa n’Obwakabaka kyongere amaanyi mu nteekateeka z’Obwakabaka.
Omumyuka wa Katikkiro asooka ,owek. Prof.Twaha Kaawaase Kigongo yeebazizza Omusumba Joseph Kizito olw’okwagala gyava n’akakasa nti Obwakabaka bwetegefu okukolagana ne bannaddiini ab’enjawulo okulaba ng’abantu bakulaakulana.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu minisita avunaanyizibwa ku nkulaakulana y’abantu, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma ne Minisita w’ensonga za Buganda ebweru, Owek. Joseph Kawuki.