• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Mayiga asabye abafumbo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe

Gambuuze by Gambuuze
November 8, 2021
in Agafa e Mengo
0 0
0
Katikkiro Mayiga asabye abafumbo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe
0
SHARES
27
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Namirembe   

Katikkiro Charles Peter Mayiga, asabye abafumbo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka, kibayambeko okwewala enkaayana eziyinza okusattulula obufumbo bwabwe.

Entanda eno, Katikkiro Mayiga agiweredde ku mukolo gw’okugatta abagole suzan Naluwooza ne  Joel Mugisa ku Lutikko e Namirembe leero ku Mmande nga bano bagattiddwa Rev. Godfrey  Kyanda.

“Mbakulisa, obufumbo bulinga ekkolero, bw’oyita omukulu okuggulawo ekkolero basala akaguwa  ne kkamera zikuba ebimyanso naye obukulu bw’ekkolero tebuli mu mukolo gw’okuliggulawo naye engeri ebitongole ebyenjawulo gye bikolamu, nammwe mu bufumbo bwe mulina okuba, obufumbo bulina ebitongole.” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.

Owoomumbuga Mayiga  ategeezezza nti kikulu nnyo abazadde okukuliza abaana baabwe mu mpisa naddala ez’obwetoowaze kubanga ze zaabasisinkanya abaana baabwe ne batuuka n’okusisinkana  era abakuutidde buli omu okutuukiriza obuvunaanyibwa bw’alina okukola mu bitongole by’amaka.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, mu  bufumbo walina okubaawo okuwuliziganya ku buli nsonga ng’ebitongole bwe bikola nga kino kye kigenda okusalawo oba obufumbo bwabwe banaabweyagaliramu.

Ono asabye abavubuka okwettanira obufumbo kiyambeko ensi okukulaakulana era bafube okunyweza  ebiragaano bye bakubye.

Abagole baliko ebirabo bye batonedde Kamalabyonna okumwebaza emirimu gy’akolera Obuganda era ne Katikkiro Mayiga abawadde ebirabo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist