
Bya Ssemakula John
Bulange Mmengo
Obwakabaka busse omukago n’ekibiina ekitaba kkampuni z’ebyobulambuzi ez’obwannannyini ekimanyiddwa nga Uganda Tourism Association, okwongera okukulaakulanya ebyobulambuzi mu Buganda ne Uganda.
Omukolo guno gubadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna era ku lwa Buganda, Omuk. Victoria Kayaga Kiggundu y’ataddeko omukono ate Ssenkulu w’ekibiina kino, Richard Kawere n’ateekako omukono era Minisita avunaanyizibwa ku nnono n’ebyobulambuzi, Owek. Kyewalabye Male abaddewo ng’omujulizi.
“Twebaza bwe mujja era mubayambe okwongera okunyiga n’okukamula ebyobulambuzi bye tulina okulaba bwe tusobola okubiggyamu ensimbi. Mwebale n’okutendeka bammemba bammwe kuba bw’oba totendese bantu ne kye bayina oluusi tebakimanya.” Owek. Kyewalabye bw’annyonnyodde.
Okusinziira ku Minisita w’Ennono n’Obuwangwa era avunaanyizibwa ku by’obulambuzi mu Bwakabaka, Owek. David Kyewalabye Male, endagaano eno nkulu nnyo kuba ebyobulambuzi ze zimukkampuni eziwaniridde ebyobulambuzi mu ggwanga.
Owek. David Kyewalabye Male asinzidde ku mukolo guno n’ategeeeza nti Obuwangwa n’Ennono bisaanye okusibwako essira era okubitumbula kubanga bino musingi gw’amaanyi mu by’obulambuzi .
Ono agamba nti singa bino bitwalibwa ng’ensonga ne bisoosowazibwa, bisobola okuvaamu ensimbi empitirivu.
Minisita Kyewalabye annyonnyodde nti okuyita mu mukago guno, ebyobulambuzi mu Bwakabaka bigenda kutumbulwa era ategeezezza nti Obwakabaka bwetegefu okukola obutaweera okulaba ng’ekiruubirirwa kino kigguka.
Ssenkulu w’ekibiina kya Uganda Tourism Associattion, Richard Kawere ategeezezza nti basuubira ebibala bingi mu mukago guno kubanga Obwakabaka bulina ebyobulambuzi ebyomuggundu ebitayinza kubuusibwa maaso era bye basuubira nti bisobola okuvaamu ensimbi.
Ate ye Ssenkulu w’ekitongole kya Buganda Heritage Tourism Board, Omuk. Victoria Kayaga annyonnyodde nti ebbanga lyonna babadde batambula n’ekibiina kino era nga gakyali mabaga kuba obulambuzi n’ennono bye bimu ku bintu ebigenda okuzza Buganda ku ntikko.
Ekitongole ky’Obwakabaka ekivunaanyizibwa ku by’obulambuzi mu Bwakabaka, ekya Buganda Heritage Tourism Board kye kiwomye omutwe mu nteekateeka eno era abakungu abakulembera ekitongole kino banyonyodde nti ebyobulambuzi mu Bwakabaka bitumbulibwa okudda ku mutindo ate n’okulaba nga bikuumibwa n’ebyasa ebirijja okubisanga.









