• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Gavumenti bongedde ogitwala mu kkooti ku by’okuggyawo okweyimirirwa

Gambuuze by Gambuuze
October 21, 2021
in Amawulire
0 0
0
Gavumenti bongedde ogitwala mu kkooti ku by’okuggyawo okweyimirirwa
0
SHARES
77
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Munnamateeka Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu okuwakanya ennongoosereza gavumenti z’eyagala okukola ku kweyimirirwa kw’abantu ababeera bagambibwa okuzza emisanngo eminene.

Kyategeerekese nga kabineeti bwe yakkiriza ennongoosereza zikolebwe mu Ssemateeka wa 1995 ku mateeka agafuga ekitongole ekiramuzi, wamu ne poliisi, nga gavumenti ewakanya ekya bantu abavunaanibwa obutemu, okukwata abakazi, obubbi n’okulya mu nsi olukwe, okweyimirirwa.

Kati Mabiriizi addukidde mu kkooti ng’asaba etunule mu kya kabineeti okukkiriza ennongoosereza zikolebwe mu ddembe ly’abantu bonna okuba nga basobola okweyimirirwa, ky’agamba nti kyakoleddwa mu bukyamu era tebaagoberedde mitendera mituufu.

Mabiriizi agamba nti kikyamu Ssaabawolereza wa gavumenti ne Minisita abakuba ebirayiro okukuuma Ssemateeka, ate okuleeta etteeka eriggyako abantu eddembe lyabwe. Agattako nti ekirowoozo kino Kabineeti kye yawagidde kikyamu.

“Ssaabawolereza talina gwe yeebuuzizzaako? Kabineeti yakuba ebirayiro okukuuma Ssemateeka, terina lukusa kuleeta oba kwanjula biteeso ebigendereddwamu  okuggyako bannansi eddembe lyabwe era kabineeti yabadde erina kusooka okwebuuza ku bakwatibwako ensonga eno.” Mabirizi bw’agambye.

Okusinziira ku Mabiriizi, ekirowoozo ky’okuggyawo okweyimirirwa kimenya mateeka era ayagala kkooti ekisazeemu era eby’okukola ennongoosereza zino biyimirizibwe mu bwangu.

Kati ono ayagala kkooti eyise ekiragiro ekigaana Palamenti oba omukungu wa gavumenti oba ekitongole kyonna okwesembereza ekiteeso kya kabineeti kino, kuba si kya bwenkanya era kijja kulinnyirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga, ekintu ekikyamu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist