• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abakulembeze e Mityana balabudde gavumenti obuteetantala kuyingirira ttaka lya mayiro

Gambuuze by Gambuuze
October 12, 2021
in Amawulire
0 0
0
Abakulembeze e Mityana balabudde gavumenti obuteetantala kuyingirira ttaka lya mayiro
0
SHARES
64
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Mityana

Abakulembeze e Mubende balabudde gavumenti obutagezaako kukola nnongoosereza mu tteeka ly’ettaka lya mayiro kuba ligendereddwamu kunafuya Bwakabaka bwa Buganda, kuba okusinga liri mu kitundu kino.

Bano nga bakulembeddwamu Mmeeya wa Mityana, Ssaalongo Mukambwe Lukonge bategeezezza  nti ebizibu byonna ebiri mu Uganda ebyekuusa ku ttaka, tebiva ku mateeka wabula ku bukulembeze obubi obulema okugateeka mu nkola.

“Ekizibu  si ttaka lya mayiro wadde bannanyini ttaka, ekizibu si basenze naye ekizibu kiva ku bukulembeze mu gavumenti eyaawakati n’abakwasisa amateeka. Mwenna mukimanyi nti gavumenti y’erina emmundu era emirundi mingi tufuna abantu abagobaganyizibwa ku ttaka ku mudumu gw’emmundu.” Lukonge bwe yannyonnyodde.

Ono yeewuunyizza lwaki abantu abasinga baddukira ttaka lya Buganda ate nga n’ebitundu ebirala waliyo ettaka. Bw’atyo n’asaba gavumenti okwetereeza mu kifo ky’okwekwasa ettaka lya Mayiro kuba abanene baayo be bali mu kugobaganya abantu.

Bano okusaba kuno baakukoledde ku kitebe kya disitulikiti y’e Mityana mu musomo gwa ‘Land Awareness Week’ ogwategekeddwa Minisitule y’ebyettaka mu ggwanga wamu ne bannamikago okuli; Buganda Land Board, Action Aid, Pulum Uganda n’abalala.

Mu nteekateeka ya ssabbiiti eno eyaweereddwayo okubangula abantu ku nsonga z’ettaka, omusomo gugenda kutambuzibwa mu disitulikiti okuli; Mityana, Mubende, Kyankwanzi ne Kassanda mu kaweefube w’okwongera okumanyisa abantu ku buvunaanyizibwa ku ttaka n’engeri gye basobola okulikozesa okwekulaakulanya.

Akulira eby’ettaka mu Minisitule, Naome Kabanda  era  nga ye yagguddewo omusomo guno, yagambye nti gavumenti tesobola kukola nkyukakyuka zonna nga tesoose kwebuuza ku bantu.

Omu ku bataka b’ekitundu era mmeeya wa Divizoni y’e Mityana, Daudi Malagala yasabye abakulu okutwala ebirowoozo byabwe nga bikulu, kireme kuba nga bwe gwali ku tteeka eryaggyawo ekkomo ku myaka.

Eyakiikiridde Ssenkulu wa Buganda Land Board, Olivia Cox Namaganda yategeezezza nti Buganda ebadde nsaale mu kunyweza abantu ku ttaka ng’ebawa ebiwandiiko ebituufu omuli n’okufuna ebyapa mu nkola emanyiddwa nga ‘Kyapamungalo.’

Namaganda annyonnyodde nti kikulu okusomesa abantu ku nsonga z’ettaka era kino Buganda ezze ekikola ne kiyamba okuteekawo enkolagana ennungi wakati wa Buganda n’abantu.

Omusomo guno gwetabiddwako; abantu baabulijjo, abakulembeze okuva mu Mityana , Mubende, Kassanda ne Kyankwanzi awamu ne bannamikago.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.