• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Bakoze Bulungibwansi ku Nnyanja ya Kabaka

Gambuuze by Gambuuze
October 6, 2021
in Amawulire
0 0
0
Bakoze Bulungibwansi ku Nnyanja ya Kabaka
0
SHARES
72
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Minisita w’Obuwangwa, Obulambuzi n’Embiri era avunaanyizibwa ku  bifo ebyenkizo, Amasiro, olulimi Oluganda, okunoonyereza n’ebyokwerinda, David Kyewalabye Male, akulembeddemu abantu ba Kabaka, n’abakulembeze b’ebitundu okugogola n’okuyooyoota ennyanja ya Kabaka ng’ebimu ku bijaguzo ebikulembera okujaguza olunaku lwa Bulungibwansi ne gavumenti ez’ebitundu olwaweebwayo okujjukira ameefuga ga Buganda aga 8/10 agatuukawo buli mwaka.

“Emirimu gya Kabaka twetika myetike, buli abeerawo mu kiseera ekyo kola ekyo ekikusaanidde. Twagala okwebaza buli omu, bajjajjaffe abaasima ennyanja eno, balina bukumbi nga babuyita busimo, aye bye byali ebiseera ebyo. Kati ebiseera bino tulina okwongeramu amaanyi n’embeera ey’omulembe.” Minisita Kyewalabye bw’agambye.

Owek. Kyewalabye ategeezezza nti ekinyusi kya Bulungibwansi kitegeeza bannanyini kitundu okukolerera ensi esobole okubeera ennungi era singa empewo eri ku nnyanja ya Kabaka ebeera ennungi, abasooka okugiganyulwamu be bantu b’ekitundu kino.

Ono asabye abantu okukuuma obuyonjo n’obutonde bw’ensi eno era n’akiggumiza nti olunaku luno lwagendererwamu okujjukira ameefuga ga Buganda nga 8/10/1962 era Beene yasiima n’aluwa Bulungibwansi, kisobozese abantu okugogola ebitundu mwe babeera.

Minisita Kyewalabye asiimye bannalubaga olw’okusitukiramu okulongoosa ennyanja eno naye n’ategeeza nti ebizibu ebiri ku nnyanja eno tebisobola kuggwaawo mu lunaku lumu, naye ate bisoboka singa babeera bakwataganidde wamu.

Ono asabye ekitongole kya KCCA okukola entegeka ezisobola okusengejja mukoka kuba emyala egyateekebwawo gimalirizza ziyingiza obucaafu ne kasasiro mu nnyanja eno n’asaba ekitongole kya KCCA okufulumya Pulaani esobola okugonjoola ensonga eno.

Minisita Kyewalabye asinzidde wano n’alabula abantu abateeka amakubo ku nnyanja eno kuba ennyanja eno terina kubaako makubo era n’asaba abalina ebizimbe wano, banoonye amakubo amatuufu ge balina okukozesa nga bali wamu ne Buganda Land Board.

Owek. Kyewalabye asabye abakulembeze okukwatagana baggyeko aboolezaako emmotoka kuba bano baabasasula era balina okuvaawo naye bakyalemeddewo olwa bannabyabufuzi abatya okufiirwa obululu era n’asaba abagiriko okukuuma ekitiibwa kyayo era bafube okulaba nti bagikuuma nga ya kiragala.

Ssentebe  w’ekitongole ky’ebyobulamuzi era ssentebe w’enteekateeka zino, Omuk. Benon  Ntambi  ategeezezza nti   okuyita mu kusomesa abatuuze ku kitiibwa n’obukulu bw’ennyanja eno, lye limu ku makubo eryokuyitamu okukuuma ennyanja ya  Ssaabasaja nga  ya mutindo  n’okuzza ekitiibwa kyayo nga kisaana kyongerwemu amaanyi.

Mmeeya Mawula Mberaze ategeezezza nti bagenda kukola buli kimu okulaba nti ekitiibwa ky’ennyanja eno kikuumibwa mu mbeera yonna.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.