
Bya Ssemakula John
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye bannabusiro okwongera amaanyi mu bulimi kibayambe okwekulaakulanya ne Buganda esobole okudda ku ntikko.
Bino Mukuuumaddamula Mayiga yabitadde mu bubaka bwe yatisse omumyuka w’omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Hajji Ahmed Lwasa eyamukiikiridde mu kutikkula oluwalo mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna.
Abaakiise Embuga kuliko eggombolola ez’enjawulo ezikola essaza Ssingo nga baakulembeddwa abaami ba Kabaka abazitwala awamu n’abakulembeze ba gavumenti ez’ebitundu.
Bano baaloopedde Katikkiro abanyazi b’ettaka lya Kabaka mu ssaza lino era ne basaba wabeewo ekikolebwa kubanga buli lukya abantu bongera okwesenza ku ttaka lya Kabaka.
Ku lwa Katikkiro, Owek. Hajji Ahmed Lwasa yasabye okukomya okunyooma ebyobulimi kuba eno yeemu ku ngeri gye basobola okulwanyisa ebbula ly’emirimu.
Ono era yabakubirizza okwegemesa ssenyiga corona kubanga Ssaabasajja Kabaka ayagala bantu balamu basobole okukulaakulanya Buganda.
Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki yasabye abaami ba Kabaka naddala abaakaweebwa obwami okubeera ekyokulabirako eri be bakulembera.
Bano baakiise n’Oluwalo lwa bukadde 4 era ne bawera okujjumbira enteekateeka zonna ez’Obwakabaka ezigendereddwamu okubasitula.









