• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Musimbire enteekateeka ezinafuya Buganda ekkuuli – Omulangira Wasajja

Gambuuze by Gambuuze
September 21, 2021
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Musimbire enteekateeka ezinafuya Buganda ekkuuli – Omulangira Wasajja
0
SHARES
61
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Omulangira David Kintu wasajja akuutidde ababaka abava mu Buganda okusimbira ekkulu enteekateeka zonna ezigendereddwamu okunafuya ensonga z’ettaka mu Buganda kubanga zizing’amya enkulaakulana mu Bwakabaka.

Bino Omulangira  Wasajja abyogedde atikkula Bannabulemeezi okubadde ababaka ba Palamenti awamu n’abaami b’amagombolola,  oluwalo wano mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.

“Ku lwange ndowooza nti emu ku nsonda  we muyinza okutandikira okulwanirira ettaka lyaffe, kwe kuzza ettaka  lya Buganda erikyali mu buwambe. Endagaano mwagiwulira eyassibwako omukono wakati wa Pulezidenti ne Kabaka mu  2013 ng’ezza ettaka lya Buganda lyonna. Naye we twogerera waliwo ebyapa ebisoba mu 350 ebikyalemeddeyo.” Omulangira Wasajja bw’asabye

Omulangira annyonnyodde nti bano babalinamu essuubi okunywerera ku Kabaka ne gavumenti ye ebbanga lyonna era n’okuweereza obulungi abantu baabwe abaabatuma.

Ono abakubirizza okukola ennyo basobole okwekulaakulanya, kibayambe okutumbula embeera zaabwe ne Buganda esobole okudda ku ntikko.

Abaami ba Kabaka mu ssaza lino, Omulangira Wasajja abasabye okukolagana obulungi ne gavumenti eyaawakati awamu ne bannaddiini basobole okusitula embeera z’abantu ba Kabaka.

Omulangira era ategeezezza nti wakati mu kusoomoozebwa kwonna, okuliwo mu ggwanga ensangi zino, balina okufuba okulaba nga bakulembeza okubeera obumu olwo Buganda lw’ejja okusobola okudda ku ntikko.

Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Christopher Bwanika asabye abantu ba Buganda okwongera okubeera abayiiya mu buli kimu naddala mu byenjigiriza, olwo abaana baleme kusigalira bbali.

Mu babaka abakiise Embuga kuliko; Sarah Najjuma omubaka  omukyala owa Nakaseke, Enock Nyongole omubaka wa Nakaseke North, Kirumira Hassan owa Katikamu South, Dennis Ssekabira owa Katikamu North, Allan Mayanja Ssebunnya owa Nakaseke Central ne Robert Ssekitooleko omubaka wa Bamunaanika.

Ababaka  abakiise Embuga abava mu Bulemeezi, baloopye okusoomoozebwa okwamaanyi kwe bayitamu mu bitundu byabwe kyokka ne beeyama okukwasizaako Obwakabaka okulaba nga bigonjoolwa.

Mu nteekateeka eno, eggombola 11 ze zikiise Embuga era nga bakulembeddwamu abaami  b’amagombolola bonna wamu n’abamyuka baabwe nga bali wamu n’ababaka ba Palamenti ab’ekitundu kino.

Bano baleese oluwalo lwa bukadde 21 n’emitwalo  90 nga eggombolola ya  Mumyuka Butambala y’ enywedde  akendo nga ereese oluwalo lwa bukadde 5 n’emitwalo 57.

Eddiriddwa eya  Mumyuka Butuntumula nga ereese oluwalo lwa Bukadde 2 n’emitwalo 71 mu kanaana, olwo eryokusatu nebeera egombolola lya Ssabawaali kalagala nga lirereese akakadde 1 mu emitwalo 67 nebaddirirwa egombolola endala 8.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.