Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Omulangira David Kintu wasajja akuutidde ababaka abava mu Buganda okusimbira ekkulu enteekateeka zonna ezigendereddwamu okunafuya ensonga z’ettaka mu Buganda kubanga zizing’amya enkulaakulana mu Bwakabaka.
Bino Omulangira Wasajja abyogedde atikkula Bannabulemeezi okubadde ababaka ba Palamenti awamu n’abaami b’amagombolola, oluwalo wano mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
“Ku lwange ndowooza nti emu ku nsonda we muyinza okutandikira okulwanirira ettaka lyaffe, kwe kuzza ettaka lya Buganda erikyali mu buwambe. Endagaano mwagiwulira eyassibwako omukono wakati wa Pulezidenti ne Kabaka mu 2013 ng’ezza ettaka lya Buganda lyonna. Naye we twogerera waliwo ebyapa ebisoba mu 350 ebikyalemeddeyo.” Omulangira Wasajja bw’asabye
Omulangira annyonnyodde nti bano babalinamu essuubi okunywerera ku Kabaka ne gavumenti ye ebbanga lyonna era n’okuweereza obulungi abantu baabwe abaabatuma.
Ono abakubirizza okukola ennyo basobole okwekulaakulanya, kibayambe okutumbula embeera zaabwe ne Buganda esobole okudda ku ntikko.
Abaami ba Kabaka mu ssaza lino, Omulangira Wasajja abasabye okukolagana obulungi ne gavumenti eyaawakati awamu ne bannaddiini basobole okusitula embeera z’abantu ba Kabaka.
Omulangira era ategeezezza nti wakati mu kusoomoozebwa kwonna, okuliwo mu ggwanga ensangi zino, balina okufuba okulaba nga bakulembeza okubeera obumu olwo Buganda lw’ejja okusobola okudda ku ntikko.
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Christopher Bwanika asabye abantu ba Buganda okwongera okubeera abayiiya mu buli kimu naddala mu byenjigiriza, olwo abaana baleme kusigalira bbali.
Mu babaka abakiise Embuga kuliko; Sarah Najjuma omubaka omukyala owa Nakaseke, Enock Nyongole omubaka wa Nakaseke North, Kirumira Hassan owa Katikamu South, Dennis Ssekabira owa Katikamu North, Allan Mayanja Ssebunnya owa Nakaseke Central ne Robert Ssekitooleko omubaka wa Bamunaanika.
Ababaka abakiise Embuga abava mu Bulemeezi, baloopye okusoomoozebwa okwamaanyi kwe bayitamu mu bitundu byabwe kyokka ne beeyama okukwasizaako Obwakabaka okulaba nga bigonjoolwa.
Mu nteekateeka eno, eggombola 11 ze zikiise Embuga era nga bakulembeddwamu abaami b’amagombolola bonna wamu n’abamyuka baabwe nga bali wamu n’ababaka ba Palamenti ab’ekitundu kino.
Bano baleese oluwalo lwa bukadde 21 n’emitwalo 90 nga eggombolola ya Mumyuka Butambala y’ enywedde akendo nga ereese oluwalo lwa bukadde 5 n’emitwalo 57.
Eddiriddwa eya Mumyuka Butuntumula nga ereese oluwalo lwa Bukadde 2 n’emitwalo 71 mu kanaana, olwo eryokusatu nebeera egombolola lya Ssabawaali kalagala nga lirereese akakadde 1 mu emitwalo 67 nebaddirirwa egombolola endala 8.