• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Otafiire asaana alekulire ku bye yayogedde ku bijambiya – Oboi Amuriat

Gambuuze by Gambuuze
September 13, 2021
in Amawulire
0 0
0
Otafiire asaana alekulire ku bye yayogedde ku bijambiya –  Oboi Amuriat
0
SHARES
61
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Party (FDC), Patrick Oboi Amuriat asabye Minisita  w’ensonga zoomunda mu ggwanga, Gen. Kahinda Otafiire alekulire ekifo kye kuba ebigambo by’ayogera si bya buvunaanyizibwa wakati ng’abantu bafiirwa obulamu bwabwe mu butemu bw’ebijambiya.

“Njagala Otafiire ayimirire ng’omusajja bw’aba akkiriza nti y’omu ku baanunula eggwanga lino, alekulire emirimu gye kubanga talaga kifaananyi kirungi eri bannayuganda.” Pulezidenti Oboi bw’agambye.

Bino Amuriat abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire lw’atuuzizza ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi era asinzidde wano n’akulembera omukolo gw’okulayiza abakulembeze b’ekibiina abaggya.

Kino kiddiridde Otafiire okutegeeza nga Masaka bwe yalimu emirembe nga balonda aba NRM naye embeera etabanguse lwakuba nti, mu kalulu akawedde aka 2021 tebaalonda NRM.

Asabye bannayuganda okwegatta ku kibiina kya FDC okubanja obwenkanya kuba ensimbi nnyingi zisaasaanyizibwa okunyweza ebyokwerinda

Amuriat asabye gavumenti okunoonyereza ku bantu abali emabega w’ettemu lino kuba eby’okukwata ababaka okuli Muhammad Ssegiriinya  ne Allan Ssewanyana, bipange nga byagendererwamu okuwugula bannayuganda.

Amuriat agamba nti ekibiina kyabwe kiyise mu kusoomoozebwa nga bangi ku bannakibiina bakyabulidde naye ng’ekibiina bakyali bagumu era bajja kugenda mu maaso, kuba emisingi kwe bayimiridde minywevu.

Ku bakulembeze abaggya abalayiziddwa, Oboi Amuriat alabudde Pulezidenti Museveni nti basimbudde era baakugenda mu maaso n’okulwanyisa obukulembeze bwe obutali bwa bwenkanya era banunule bannansi.

Ono asinzidde wano n’asaba abantu bonna abaagala enkyukakyuka mu bibiina byonna awamu ne NRM, okumanya nti enzigi z’ekibiina nzigule okubaaniriza era bakolere wamu.

Abakulembeze abaggya abalayiziddwa mulimu; Omuloodi Erias Lukwago eyalondeddwa ng’amyuka Pulezidenti w’ekibiina mu Buganda oluvannyuma lwa Owek. Nabbosa Ssebuggwawo okuweebwa ekifo kya Minisita omubeezi owa tekinologiya.

Bw’abadde alayira, Omuloodi aweze okukozesa obukugu bw’alina okusobola okulaba ng’atumbula ekibiina mu ggwanga wakati mu kugendera ku mateeka agafuga ekibiina.

Abakulembeze abalala abalayiziddwa ye mubaka omukyala owa Soroti, Anne Adeke okubeera omumyuka wa Pulezidenti mu buvanjuba ate eyali omubaka Hassan Kaps Fungaroo yalondeddwa okubeera omukunzi w’ekibiina awamu n’abalala.

Fungaroo y’asikidde  Ingrid Turinawe eyajeemera ekibiina ne yeesimbawo ku bwannamunigina oluvannyuma lw’okuwangulwa mu kamyufu k’ekibiina mu 2021.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.