Bya Ssemakula John
Kampala
Ababaka abava mu kibiina kya NRM abakiikirira ekitundu ky’e Kasese, basabye kkooti eyanguyeeko okuwozesa Omusinga wa Rwenzururu, Charles Wesley Mumbere awamu n’abakuumi be abaakwatibwa oluvannyuma lw’amagye okulumba olubiri lw’Omusinga.
Okusaba kuno ababaka bano bakukoledde mu Palamenti ku Mmande ne basaba emisango gyanguwe kisobole okutebenkeza emitima gy’abantu mu kitundu ky’e Kasese.
Ku babaka bano abatudde kuliko; Sowed Kitanywa owa Busongora North, Ferigo Kambale owa Munisipaali y’e Kasese ne Gideon Thembo Mujungu akiikirira Busongora South era bagamba nti omusango guno okukandaalirira tekibamalako ddembe lya buntu lyokka, wabula kizingamizza n’enkulaakulana yaabwe mu kitundu kino.
Kinajjukirwa nti, mu Novemba wa 2016, amagye ne poliisi gaalumba olubiri lw’Omusinga mu bukuubagano obwafiiramu abantu abaawerako n’abalala ne bakwatibwa nga mwe mwali n’Omusinga.
Wabula bwe twabadde tugenda mu kalulu ka 2021, kkooti yayimbudde abakuumi b’Omusinga abawera 132, ekintu ekyalowoozebwako nga eky’okuzza emitima gy’abantu b’e Kasese, basobole okuwagira ekibiina kya NRM mu kalulu.
Ababaka bano era baagala kkooti ekkirize eyimbule abakuumi b’Omusinga 78 ku kakalu kaayo kuba bakitegeddeko nga bwe waliwo abakuumi b’Omusinga 9 abazze bafiira mu kkomera.
Era ababaka bano basabye kkooti ekendeeze ku bukwakkulizo obwateekebwawo okweyimirira Omusinga Mumbere wamu ne Katikkiro we.
Mu kiseera kino, Mumbere tasobola kugenda mu kitundu kya Kasese okuggyako ng’asoose n’afuna olukusa okuva mu kkooti.
Ababaka era basabye gavumenti etandike okulowooza ku kuddamu okuzimba olubiri lw’Omusinga olwayonoonebwa mu bukuubagano obwali mu 2016 ng’amagye ne poliisi balulumbye.