Bya Ssemakula John
Kampala
Ssenkulu w’ettendekero ly’Obwakabaka erya Buganda Royal institute Omuk . Anthony Wamala afalaasidde abavubuka bulijjo okweyunira ebitongole by’Obwakabaka ku mitendera egyenjawulo nga kino kibasobozesa okulinnya ku nfeete ebyo byonna ebibasoomoza .
Okwogera bino asinzidde mu lubiri e Mmengo bwabadde atikkula amakula (ebirabo) okuva mu bavubuka b’eggombolola ya Ssaabagabo Ngogwe abavudde mu sazza lya Kabaka ery’e Kyaggwe amakula.
Bano bakulembeddwamu omwami wa kabaka atwala e Ggombolola eno n’abakulembeze b’abavubuka .
Mu ngeri yeemu Omuk. Wamala abuulidde abantu ba Ssaabasajja naddala abavubuka okukuuma eky’obugagga ky’ ettaka mu kiseera kino kuba kyekimu ku biyinza okubayamba okuvuunuka olumbe lw’obwavu.
Katikkkiro w’Ebyalo bya Kabaka Omuk. Moses Luutu abasabye okunnyikiza obulimi n’obulunzi nga kino kyakubayamba okwekulaakulanya .
Omwami wa Kabaka akulembeddemu abavubuka asabye wabeewo enteekateeka eyerula ettaka lya Ssaabasajja kiyambeko okulikuuma ‘nokukomya abaagala okulibba.
Abavubuka baliko ensonga zebaloopye embuga ezibasuza tebebase kyokka nebawera okusigala nga baweereza n’okwenyigira mu buli nteekateeka z’Obwakabaka .
Mu makula agaleeteddwa mubaddemu emmere , ebisolo , ebibala n’ebintu ebirala.